رفتن به محتوا

AMOSI 8

8
Ekibbo ky'ebibala
1Bino, Mukama Katonda bye yandaga: ekibbo ky'ebibala eby'omu kyeya. 2Mukama n'ambuuza nti: “Amosi, olaba ki?” Ne nziramu nti: “Ekibbo ky'ebibala eby'omu kyeya.”
Mukama n'aŋŋamba nti: “Abantu bange Abayisirayeli banaatera okuzikirizibwa. Sijja kuddamu kukyusa kirowoozo kyange, nja kubabonereza. 3Ku lunaku olwo, ennyimba ez'omu Ssinzizo#8:3 Ez'omu Ssinzizo: Oba “Ez'omu lubiri.”, zirifuuka kutema miranga. Emirambo giriba mingi. Baligisuula mu buli kifo nga basirise.”
Okuzikirira kw'Abayisirayeli
4Muwulire kino,
mmwe abalinnyirira bakateeyamba,
era abasaanyaawo abaavu
ab'omu ggwanga lino,
5nga mugamba nti:
“Ennaku enkulu zinaggwaako ddi,
tulyoke tutunde eŋŋaano?
Ne Sabbaato eneggwaako ddi,
tulyoke tuddemu okutunda?
Olwo tulyoke tukendeeze ekipimo,
ate twongeze emiwendo,
tukumpanye nga tukozesa minzaani
ezitapima kituufu.
6Tutunde ebisusunku by'eŋŋaano.
Tulabe abaavu
abatasobola kusasula mabanja,
wadde okusasulira omugogo gw'engatto,
tubagule bafuuke abaddu baffe.”
7Mukama, Katonda wa Yisirayeli
alayidde nti:
“Mazima siryerabira
wadde ekimu ku bikolwa byabwe.
8Ensi erikankana olw'ekyo,
era buli muntu agirimu,
alinakuwala.
Yonna eritabanguka n'etumbiira,
era n'ekka ng'Omugga Kiyira.
9Ku lunaku olwo,
ndiragira enjuba n'egwa
mu budde obw'ettuntu,
era ndireeta ekizikiza ku nsi emisana.
Nze Mukama, Katonda, nze njogedde.
10Embaga zammwe,
ndizifuula za kukungubaga,
n'ennyimba zammwe ez'essanyu,
ndizifuula kutema miranga.
Ndibamwesaako enviiri zammwe,
ne mwambala ebikutiya,
ne muba ng'abazadde
abakungubagira omwana waabwe
gwe babadde balina omu yekka.
Olunaku olwo lwonna
lulibeera lwa bulumi.
11“Ekiseera kijja kutuuka,
nsindike enjala mu nsi.
Abantu balirumwa enjala
naye nga si ya mmere.
Balirumwa ennyonta,
naye nga si ya mazzi,
wabula nga ya kuwulira
Kigambo kya Mukama.
Nze Mukama, Katonda,
nze njogedde.
12Balitambula okuva ku Nnyanja Enfu
okutuuka ku Nnyanja Eyaawakati,
n'okuva ebuvanjuba
okutuuka ebugwanjuba.
Era balidda eno n'eri,
nga banoonya ekigambo kya Mukama.
Naye tebalikizuula.
13Ku lunaku olwo
abawala abalungi n'abalenzi
balizirika olw'ennyonta.
14Abo abalayira balubaale b'e Samariya,
ne bagamba nti:
‘Lubaale w'e Daani omulamu!’
Oba nti: ‘Lubaale w'e Beruseba omulamu!’
Baligwa, ne bataddamu kuyimuka.”