AMOSI 9
9
Mukama asala omusango
1Nalaba Mukama ng'ayimiridde
ku mabbali g'alutaari,
n'alagira nti:
“Kuba emitwe gy'empagi z'essinzizo,
emiryango gikankane.
Era gimenye, gigwe
ku mitwe gy'abantu.
Abo abasigaddewo,
ndibattira mu lutalo.
Tewaliba n'omu ku bo adduka,
wadde awonawo.
2Ne bwe balisima okutuuka emagombe,
era ndibakwata ne mbaggyayo.
Ne bwe balirinnya waggulu mu ggulu,
era ndibawanulayo.
3Ne bwe balyekweka
ku ntikko y'Olusozi Karumeeli,
era ndibanoonya ne mbaggyayo.
Ne bwe balinneekweka wansi
mu buziba bw'ennyanja,
era ndiragira ogusota gwamu
ne gubabojja.
4Ne bwe balitwalibwa abalabe baabwe
mu buwaŋŋanguse,
era ndiragira ne battirwa eyo.
Mmaliridde kubakolako kabi,
sso si kubakolera birungi.”
5Mukama Katonda Nnannyinimagye,
ye oyo akwata ku nsi n'ekankana,
bonna abagiriko ne banakuwala,
yonna n'etumbiira era n'ekka
ng'Omugga Kiyira.
6Mukama yazimba
ennyumba ye mu ggulu,
era waggulu w'ensi
n'ateekawo ebbanga.
Ye ayita amazzi g'omu nnyanja,
n'agayiwa ku lukalu.
Erinnya lye ye Mukama.
7Mukama agamba nti:
“Mmwe Abayisirayeli,
ndowooza ku bantu b'e Etiyopiya,
nga bwe ndowooza ku mmwe.
Naggya Abafilistiya mu Kafutoori,
n'Abasiriya mu Kiri,
nga bwe naggya mmwe
mu nsi y'e Misiri.
8Nze Mukama Katonda,
kaakano neekaliriza
obwakabaka buno obwa Yisirayeli
obukola ebibi,
era ndibusaanyaawo ku nsi,
naye sirizikiririza ddala
bazzukulu ba Yakobo.
9“Ndiragira era ne nkuŋŋaanya
Abayisirayeli mu mawanga gonna,
ng'eŋŋaano bw'ekuŋŋaanyizibwa
mu kakuŋŋunta,
okuggyamu bonna
abatalina mugaso.
10Mu bantu bange,
abo bonna aboonoonyi,
era abagamba nti:
‘Akabi tekalitutuukako,
wadde okutusemberera’
balifiira mu lutalo.”
Okuzza Yisirayeli obuggya
11“Olunaku lulituuka,
ne nzizaawo obwakabaka bwa Dawudi,
obuli ng'ennyumba eyagwa.
Ndiddaabiriza ebisenge
by'ennyumba eyo,
ne ngizzaawo nga bwe yali edda.#Laba ne Bik 15:16-18
12Olwo Abayisirayeli baliwangula
ensi ya Edomu esigaddewo
era n'amawanga gonna
agaabeerako agange.
Mukama alikola ekyo,
bw'atyo bw'agamba.
13“Ennaku zirituuka,
obudde obw'amakungula g'eŋŋaano
n'obw'okusogola emizabbibu
ne butuuka,
ng'obw'okusiga tebunnaggwaawo.
Omwenge omuwoomu
gulikulukuta okuva ku nsozi
ne ku busozi bwonna.
14Era ndikomyawo abantu bange
Abayisirayeli mu nsi yaabwe.
Ebibuga byabwe
ebyalekebwa awo ettayo,
birizimbibwa ne babibeeramu.
Balisimba emizabbibu,
ne banywa omwenge gwayo.
Balirima ennimiro,
ne balya ebibala byamu.
15Ndisenza abantu bange
mu nsi gye nabawa,
era tebaliddayo kugisengukamu.”
Mukama Katonda wammwe
bw'atyo bw'ayogedde.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.