AMOSI 7
7
Okulaba enzige
1Bino Mukama Katonda bye yandaga: nalaba ng'ateekateeka ebibinja by'enzige, nga baakamala okusala omuddo gwa kabaka, era nga gutandika okuddamu okumera. 2Bwe zaamala okulya buli kimera kyonna mu nsi, ne ŋŋamba nti:
“Ayi Mukama Katonda,
nkwegayiridde, sonyiwa!
Abayisirayeli banaasobola batya okulama?
Kubanga tebaliiko bwe bali!”
3Awo Mukama n'akyusa
ekirowoozo kye,
n'agamba nti:
“Ekyo tekijja kutuukirira.”
Omuliro
4Bino Mukama, Katonda bye yandaga: nalaba ng'ateekateeka omuliro okubonereza abantu. Omuliro ogwo ne gukaliza obuziba bw'ennyanja, ne gutandika n'okwokya olukalu. 5Awo ne ŋŋamba nti:
“Ayi Mukama, Katonda,
Abayisirayeli banaayinza batya okulama?
Kubanga tebaliiko bwe bali!”
6Awo Mukama n'akyusa
ekirowoozo kye,
n'agamba nti:
“Era n'ekyo tekijja kutuukirira.”
Omuguwa ogugera
7Bino Mukama bye yandaga: nalaba Mukama ng'ayimiridde ku mabbali g'ekisenge, ekyazimbibwa nga bapimisa omuguwa ogugera. Yali akutte omuguwa ogugera. 8N'ambuuza nti:
“Amosi, olaba ki?”
Ne nziramu nti:
“Omuguwa ogugera.”
Awo Mukama n'agamba nti:
“Nkozesa omuguwa ogugera,
okulaga Abayisirayeli nti:
bali ng'ekisenge ekitateredde.
Sikyaddamu kukyusa
kirowoozo kyange,
nja kubabonereza.
9Ebifo ebigulumivu
bazzukulu ba Yisaaka mwe basinziza,
birizikirizibwa.
Ne zaalutaari za Yisirayeli
zirisaanyizibwawo.
Era ab'ennyumba ya kabaka Yerobowaamu,
ndibattira mu lutalo.”
Amosi ne Amaziya
10Awo Amaziya kabona w'e Beteli, n'atumira Yerobowaamu, kabaka wa Yisirayeli, ng'agamba nti: “Amosi akwekobera mu Bayisirayeli. Byonna by'ayogera, eggwanga teriyinza kubigumiikiriza, 11kubanga Amosi agamba nti: ‘Yerobowaamu wa kufiira mu lutalo. Era Abayisirayeli, bajja kuggyibwa mu nsi yaabwe, batwalibwe mu buwaŋŋanguse.’ ”
12Awo Amaziya n'agamba Amosi nti: “Ggwe omulanzi, genda, ddayo mu Buyudaaya, okolere eyo ogw'obulanzi, era eyo gy'oba ofuna emmere gy'olya. 13Naye toddangamu kukolera gwa bulanzi wano mu Beteli, kubanga kino kye kifo, kabaka mw'asinziza, era lye Ssinzizo ly'eggwanga.”
14Awo Amosi n'addamu Amaziya nti: “Saali mulanzi, wadde omugoberezi w'abalanzi, wabula nali mulunzi era nga ndabirira miti emisikamoreya. 15Naye Mukama yanzigya ku mulimu gwange ogw'obulunzi, n'aŋŋamba nti: ‘Genda olange eri abantu bange Abayisirayeli.’ 16Kale kaakano wulira Mukama ky'agamba. Oŋŋamba nti: ‘Tolanga bivumirira Bayisirayeli, toyogera bikosa bazzukulu ba Yisaaka.’ 17Mukama kyava agamba nti: ‘Mukazi wo alifuuka malaaya mu kibuga. Batabani bo ne bawala bo balittirwa mu lutalo. Ettaka lyo lirigabanibwamu ne liweebwa abalala. Naawe kennyini olifiira mu nsi ey'abatali balongoofu, era Abayisirayeli tebalirema kuggyibwa mu nsi yaabwe, ne bawaŋŋangusibwa.’ ”
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.