رفتن به محتوا

AMOSI 6

6
Okuzikirizibwa kwa Yisirayeli
1Zibasanze mmwe abali obulungi mu Siyooni, nammwe abatalina kye mweraliikirira ku lusozi lwa Samariya, mmwe abakungu mu ggwanga lya Yisirayeli, ekkulu mu mawanga gonna, mmwe, abantu gye bajja okunoonya obuyambi. 2Mugende mutunuulire ekibuga Kalune. Muve eyo mulage mu kibuga ekikulu Hamati, ate muserengete mu Gaati, ekibuga ky'Abafilistiya. Ebibuga ebyo bisinga obwakabaka bwa Buyudaaya n'obwa Yisirayeli obulungi? Oba bisinga ensi yammwe obugazi? 3Mugaanye okukkiriza nti olunaku olw'akabi lunaatera okutuuka, kyokka ne mukola ebirusembeza okumpi! 4Ziribasanga mmwe abagalamira ku bitanda eby'amasanga, ne mulya endiga ento, n'ennyana ez'omu magana gammwe. 5Muyimbira ku ddoboozi ery'ennanga ennyimba ez'okwegayaaza, era mweyiiyiza ebivuga nga Dawudi bwe yakola. 6Munywera Omwenge mu mpaawo, era mwesiiga omuzigo ogusingira ddala obulungi, naye ne mutalumirwa kuzikirira kwa Yisirayeli.#6:6 kwa Yisirayeli: Oba “Kwa Yosefu” naye Yosefu ng'akozesebwa mu kifo kya Yisirayeli, kyetuva tukozesa Yisirayeli obutatabula asoma. 7Kale mmwe mulikulemberamu olunyiriri lw'abalitwalibwa mu buwaŋŋanguse. N'ebinyumu byammwe, mmwe abagayaavu, birikoma.
8Mukama, Katonda Nnannyinimagye alayidde nti: “Nkyawa okwekulumbaza kw'Abayisirayeli, ne ntamwa amayumba gaabwe. Kyendiva mpaayo eri omulabe ekibuga kyabwe ekikulu, ne byonna ebikirimu.”
9Abantu kkumi bwe balisigala mu nnyumba emu, balifa. 10Owooluganda lw'omufu, era ateekwa okumuziika, bw'alifulumya omulambo mu nnyumba, alibuuza oyo akyasigadde mu nnyumba nti: “Wakyaliyo omulala ali naawe?” Oli aliddamu nti: “Nedda.” Ono aligamba nti: “Sirika, tuleme wadde okwatula erinnya lya Mukama.”
11Mukama bw'aliragira,
ennyumba ennene n'entono
zirimenyebwamenyebwa.
12Embalaasi ziddukira ku lwazi?
Abantu balimisa ente ku nnyanja?
Naye mmwe, obwenkanya
mubufudde butwa,
n'ekituufu mukifudde kikyamu.
13Musanyuka olw'okuwamba
ekibuga Lodebari,#6:13 Lodebari: Mu Lwebureeyi “Lodebar” ekitegeeza nti: “Tewali kantu.”
era mwewaana nti:
“Twefunidde ekibuga Karinayimu#6:13 Karinayimu: Mu Lwebureeyi “Karnaim” ekitegeeza “Amayembe.”
olw'amaanyi gaffe.”
14Mukama Katonda Nnannyinimagye
agamba nti:
“Mmwe Abayisirayeli,
nja kusindika ab'eggwanga eddala,
beefuge ensi yammwe.
Balibabonyaabonya mmwe,
okuviira ddala mu Hamati,
okutuuka ku kagga ak'e Araba.”