AMOSI 5
5
Abayisirayeli bayitibwa okwenenya
1Mmwe Abayisirayeli,
muwulire bino bye nnyimba
okubakungubagira:
2“Yisirayeli omuwala embeerera agudde,
taliddayo kuyimuka.
Agudde wansi mu nsi ye,
anaamuyimusa tewali!”
3Mukama Katonda agamba nti: “Ekibuga ky'omu Yisirayeli ekisindika abalwanyi olukumi, kikumi bokka be balikomawo. Ekyo ekisindika ekikumi, abalwanyi kkumi bokka be balikomawo.”
4Mukama agamba Abayisirayeli nti: “Mujje gye ndi, munaabanga balamu. 5Naye temugenda Beruseba kusinza. Temugenda Gilugaali, kubanga abaamu, ba kutwalibwa mu busibe. Temunnoonyeza Beseli, kubanga Beteli kya kuggwaawo.”
6Mugende eri Mukama, munaabanga balamu. Mukama aleme kubuubuuka ng'omuliro ku Bayisirayeli#5:6 Ku Bayisirayeli: Oba ku b'ennyumba ya Yosefu., ne gwokya abantu b'e Beteli, nga tewali ayinza kuguzikiza. 7Zibasanze mmwe, abatasala mazima, era abatali benkanya.
8Mukama ye yatonda emmunyeenye
zi Puleyade ne Oriyoni.
Ekibadde ekizikiza
ye akifuula okuba omusana.
N'obudde obubadde obw'emisana,
ye abufuula okuba obw'ekiro.
Ye ayita amazzi ag'omu nnyanja
n'agayiwa ku lukalu.
Erinnya lye ye Mukama.#Laba ne Yob 9:9; 38:31
9Azikiriza ab'amaanyi
awamu n'ebigo byabwe.
10Mmwe mukyawa oyo alamula obulungi mu mbuga z'amateeka, era mutamwa oyo ayogera amazima. 11Kale nga bwe munyigiriza abaavu, ne mubanyagako eŋŋaano yaabwe, amayumba ag'amayinja ge muzimbye, temuligabeeramu, era n'emizabbibu emirungi gye musimbye, temulinywa mwenge ogugivaamu. 12Mmanyi ebibi byammwe we byenkana obungi, n'emisango gye muzzizza, we gye nkana obunene. Muyigganya abatuukirivu, mulya enguzi, era mugoba emisango gy'abaavu, ne mutabasalira mazima. 13Omugezi kyava asirika busirisi mu biseera bino, kubanga biseera bibi.
14Mufube okukola ebirungi, sso si ebibi, lwe munaabanga abalamu. Olwo Mukama, Katonda Nnannyinimagye anaabanga nammwe, nga bwe mugamba nti ali nammwe. 15Mukyawenga ebibi, mwagalenga ebirungi. Musalenga amazima mu mbuga zammwe. Oboolyawo Mukama, Katonda Nnannyinimagye alikwatirwa ekisa Abayisirayeli#5:15 Abayisirayeli: Oba “Aba Yosefu.” abalisigalawo.
16Mukama, Katonda Nnannyinimagye kyava agamba nti: “Walibaawo okukuba ebiwoobe mu nguudo, era wonna mu makubo, baligamba nti: ‘Zitusanze!’ Baliyita abalimi okukungubagira awamu n'abo abasasulibwa olw'okukungubagira abafu. 17Walibaawo okukuba ebiwoobe mu nnimiro zonna ez'emizabbibu, kubanga njija okubabonereza mmwe.” Mukama ye ayogedde.
18Zibasanze mmwe abalindirira olunaku lwa Mukama. Mwagalira ki olunaku lwa Mukama? Luliba lwa kizikiza, sso si lwa kitangaala. 19Kiriba ng'omuntu bw'adduka empologoma, ate n'asisinkana eddubu, oba ng'omuntu bw'ayingira mu nnyumba n'akwata ku kisenge, omusota ne gumubojja. 20Olunaku lwa Mukama luliba lwa kizikiza, sso si lwa kitangaala, lwa kizikiza ekikutte, omutali katangaala.
21Mukama agamba nti: Nkyawa era nnyooma embaga zammwe, era sisanyukira nkuŋŋaana zammwe. 22Wadde mumpa ebitambiro byammwe ebyokebwa, oba ebirabo byammwe eby'emmere ey'empeke, sijja kubikkiriza, era sisanyukira nsolo zammwe ezassava ze mutambira. 23Munzigyeeko oluyoogaano lw'ennyimba zammwe, sijja kuwuliriza maloboozi ga nnanga zammwe. 24Naye muleke obwenkanya bukulukute ng'amazzi, n'obutuukirivu bube ng'omugga ogujjula ne gubooga.
25“Mmwe Abayisirayeli, mwampanga ebitambiro n'ebirabo mu myaka amakumi ana, gye mwamala mu ddungu? 26Naye kaakano nga bwe musinzizza ebifaananyi bye mwekolera ebya Sakkuti, kabaka lubaale wammwe, n'ebya Kayiwaani, emmunyeenye lubaale wammwe, mulitwala ebifaananyi ebyo 27bwe ndibawaŋŋangusiza eyo, okuyisa e Damasiko.” Bw'atyo Mukama bw'agamba. Erinnya lye ye Katonda Nnannyinimagye.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.