رفتن به محتوا

AMOSI 4

4
1Muwulire kino, mmwe abakazi b'e Samariya, abagezze ng'ente z'e Basani, mmwe abanyigiriza abo abateeyinza, era abakamula abaavu, mmwe abagamba babbammwe nti: “Muleete omwenge tunywe.” 2Nga Mukama Katonda bw'ali omutuukirivu, alayidde nti: “Ennaku zijja kutuuka, lwe balibatungamu amalobo, ne babaggyawo mwenna, nga babasika ng'ebyennyanja. 3Balibawalula nga babayisa mu bituli ebiriraanyeewo, ebimogoddwa mu bisenge, ne babasuula mu Harumooni.” Mukama ye ayogedde.
Abayisirayeli tebayiga
4Mukama Katonda agamba nti: “Mmwe Abayisirayeli, mujje e Beteli mukole ebibi, mujje e Gilugaali mwongere okwonoona. Muleete ebitambiro byammwe buli nkya, n'ebitundu eby'ekkumi buli nnaku ssatu. 5Muweeyo ekirabo eky'emigaati egizimbulukusiddwa, gyokebwe nga mwebaza Katonda, era mulangirire ebirabo bye muwaayo nga mweyagalidde. Mubirangirire, kubanga ekyo kye musiima okukola.
6“Naleeta enjala mu bibuga byammwe byonna, emmere n'ebula ne mu byalo byammwe. Naye era ne mutadda gye ndi. 7Naziyiza enkuba okutonnya, ng'ekyabula emyezi esatu okutuuka ku makungula. Natonnyesa enkuba mu kibuga ekimu, ne ngiziyiza okutonnya mu kibuga ekirala. Yatonnya mu kitundu ekimu, ekitundu ekirala ne kikala. 8Ab'omu bibuga ebibiri oba ebisatu baatambulanga ne balaga mu kibuga ekirala okunywa amazzi, naye ne batasangayo gamala kuloga nnyonta. Naye era ne mutadda gye ndi. 9Nababonereza nga nsindika okugengewala n'obukuku mu birime byammwe. Enzige zaalya ennimiro zammwe ez'emmere n'ez'emizabbibu, n'emiti gyammwe egy'emitiini n'egy'emizayiti. Naye era ne mutadda gye ndi.
10“Nasindika kawumpuli mu mmwe nga gwe nasindika mu b'e Misiri. Natta abavubuka bammwe mu lutalo, embalaasi zammwe ne zinyagibwa. Najjuza ennyindo zammwe ekivundu ky'emirambo mu nsiisira zammwe. Naye era ne mutadda gye ndi.
11“Nazikiriza abamu mu mmwe, nga bwe nazikiriza ab'e Sodoma ne Gomora. Mmwe abaawonawo ne muba ng'omumuli oguggyiddwa mu muliro. Naye era ne mutadda gye ndi.#Laba ne Nta 19:24 12Kale mmwe Abayisirayeli, nja kubabonereza. N'olwekyo mweteeketeeke okunsisinkana.”
13Katonda ye yabumba ensozi,
era ye yatonda embuyaga,
era ye ategeeza abantu
ye by'alowooza.
Obudde obubadde obw'emisana
ye abufuula okuba obw'ekiro.
Ye atambulira ku ntikko z'ensozi.
Erinnya lye ye Mukama,
Katonda Nnannyinimagye.