AMOSI 3
3
1Mmwe Abayisirayeli, muwulire ekigambo kino Mukama ky'aboogeddeko mmwe eggwanga lyonna lye yaggya mu nsi ey'e Misiri. Agamba nti: 2“Mmwe mwekka mu mawanga gonna agali ku nsi, mmwe naluŋŋamya. Kyendiva mbabonereza olw'ebibi byammwe byonna.”
Omulimu gw'omulanzi
3Ababiri bayinza okutambulira awamu nga tebamaze kukkaanya? 4Empologoma a ewulugumira mu kibira nga terina ky'eyizze? Empologoma ekaabira mu mpuku yaayo nga terina ky'ekutte?
5Ekinyonyi kikwasibwa mu mutego nga tewali kyakulya kye bakiteze? Omutego gumasuka nga tewali kigumasudde?
6Bafuuyira eŋŋombe z'olutalo mu kibuga abantu ne batatya? Akabi kagwa mu kibuga nga Mukama si ye akasindise?
7Mukama Katonda taliiko ky'akola wabula ng'amaze kukitegeezaako abaweereza be abalanzi.
8Empologoma bw'ewuluguma, ani atatya? Mukama Katonda bw'ayogera, ani ayinza obutalangirira bubaka bwe?
Okuzikirira kwa Samariya
9Mulangirire mu mbiri z'omu Asudoodi n'ez'omu Misiri, mugambe nti: “Mukuŋŋaanire ku nsozi z'e Samariya, mulabe omuvuyo omungi n'ejjoogo ebikirimu.”
10Mukama agamba nti: “Abantu abo tebamanyi kukolera ku mazima: bateeka mu mayumba gaabwe ebintu ebinyage n'ebibbe. 11Omulabe kyaliva yeetooloola ensi yaabwe, n'amenya ebigo byabwe, n'anyaga eby'omu mayumba gaabwe.”
12Mukama agamba nti: “Ng'omusumba bw'asuuzaako amagulu abiri, oba ekitundu ky'okutu eky'endiga eriiriddwa empologoma, n'Abayisirayeli ababeera mu Samariya bwe baliwonawo abatono ku abo kaakati abagandaalira mu buliri obw'omuwendo omunene. 13Mukama, Katonda Omuyinzawaabyonna agamba nti: ‘Muwulire era mulabule bazzukulu ba Yakobo.’ 14Ku lunaku lwe ndibonereza eggwanga lya Yisirayeli olw'ebibi byalyo, ndisaanyaawo zaalutaari ez'e Beteli. Ensonda zaazo zonna zirimenyebwa ne zigwa wansi.#Laba ne 2 Bassek 23:15 15Ndizikiriza amayumba, ge babeeramu mu budde obw'obutiti, n'amayumba ge babeeramu mu budde obw'ekyeya. Amayumba agatimbiddwa amasanga galisaanawo, n'amayumba amanene galizikirizibwa.”
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.