AMOSI 2
2
Mowaabu
1Mukama agamba nti: “Abantu b'e Mowaabu bakoze ebibi emirundi n'emirundi. N'olwekyo sirirema kubabonereza, kubanga baayokya amagumba ga kabaka w'e Edomu, ne gafuuka evvu.#Laba ne Yis 15:1–16:14; 25:10-12; Yer 48:1-47; Ezek 25:8-11 Zef 2:8-11 2Kyendiva nkoleeza omuliro ku nsi y'e Mowaabu, era gulyokya amayumba g'e Keriyooti. Abantu b'e Mowaabu balifiira mu kasasamalo k'olutalo, ng'abatabaazi baleekaana, era nga bafuuwa eŋŋombe. 3Ndisaanyaawo omufuzi w'e Mowaabu awamu n'abakungu bonna ab'omu nsi eyo.”
Buyudaaya
4Mukama agamba nti: “Abantu b'omu Buyudaaya bakoze ebibi emirundi n'emirundi. N'olwekyo sirirema kubabonereza kubanga bagaanye amateeka gange, era tebakutte biragiro byange. Eby'obulimba bajjajjaabwe bye baagobereranga, bibawubisizza, 5kyendiva nkoleeza omuliro ku Buyudaaya, ne gwokya amayumba g'omu Yerusaalemu.”
Katonda asalira Yisirayeli omusango
6Mukama agamba nti: “Abayisirayeli bakoze ebibi emirundi n'emirundi. N'olwekyo sirirema kubabonereza, kubanga batunze mu buddu abantu abatalina bukuusa, naye abatasobola kusasula mabanja, era abaavu abatasobola kusasulira wadde omugogo gw'engatto. 7Balinnyirira abateeyinza, ng'abalinnyirira enfuufu, ne bagoba omwavu mu kkubo. Omulenzi ne kitaawe benda ku muwala omu, bwe batyo ne boonoona erinnya lyange ettukuvu. 8Ku mabbali ga buli alutaari, bagalamira ku byambalo bye baggye ku baavu ng'omusingo. Mu Ssinzizo lya Katonda waabwe mwe banywera omwenge ogw'omutango gwe baggye ku bantu ababalinako amabanja.
9“Sso ng'olw'okulumirwa mmwe abantu bange, nasaanyizaawo ddala Abaamori nga mulaba, abantu abaali abawanvu ng'emivule, era ab'amaanyi ng'emyera.#Laba ne Ma 3:8-11 10Era nabaggya mmwe mu nsi ey'e Misiri, ne mbaluŋŋamiza emyaka amakumi ana okubayisa mu ddungu, ne ndyoka mbawa ensi y'Abaamori abo ebe yammwe. 11Nalonda abamu ku batabani bammwe babe abalanzi, n'abamu ku bavubuka bammwe babe abawonge.#2:11 Abawonge: Be Bayisirayeli abaawongerwanga Katonda, nga tebanywa bitamiiza era nga tebasalako nviiri, wadde okukwata ku mulambo. Laba ne Okubala 6:1-8. Ekyo si bwe kiri, mmwe Abayisirayeli? Nze Mukama, nze njogedde.#Laba ne Kubal 6:1-8 12Naye mwanywesa abawonge omwenge, ne mulagira abalanzi nti: ‘Temulanga.’ 13Kale kaakano nja kubanyigiriza ku ttaka, mube ng'ekigaali ekyetisse ebinywa by'eŋŋaano. 14Embiro tezirigasa baddusi, ab'amaanyi baliggwaamu endasi, n'abazira tebalyewonya. 15Abalasi b'obusaale tebaliguma kuyimirirawo, abaddusi b'embiro tebalyewonya, wadde abeebagazi b'embalaasi okuwonya obulamu bwabwe. 16Ku lunaku olwo, wadde n'abazira abasinga obuvumu balisuula ebyokulwanyisa ne badduka.” Mukama ye ayogedde.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.