AMOSI 1
1
1Bino bye bigambo bya Amosi, omu ku basumba b'e Tekowa. Bino byonna ebifa ku Yisirayeli Katonda yabiraga Amosi, nga Wuzziya ye kabaka wa Buyudaaya, ne Yerobowaamu, mutabani wa Yowaasi, nga ye kabaka wa Yisirayeli, ng'ekyabulayo emyaka ebiri okutuuka ku kukankana kw'ensi.#Laba ne 2 Bassek 15:1-7; 2 Byom 26:1-23; 2 Bassek 14:23-29
2Amosi yagamba nti: “Mukama awulugumira ku Lusozi Siyooni, eddoboozi lye libwatukira mu Yerusaalemu. Amalundiro g'abasumba gakala, n'omuddo ku ntikko y'Olusozi Karumeeli guwotoka.”#Laba ne Yol 3:16
Katonda asalira baliraanwa ba Yisirayeli omusango
Siriya
3Mukama agamba nti: “Abantu b'omu Damasiko bakoze ebibi emirundi n'emirundi. N'olwekyo sirirema kubabonereza. Baabonyaabonya abantu b'e Gileyaadi mu bukambwe obungi.#Laba ne Yis 17:1-3; Yer 49:23-27; Zek 9:1 4Kyendiva nkozesa omuliro ku lubiri lwa kabaka Azayeeli, ne njokya ebigo bya kabaka Benadaadi. 5Ndimenya ebisiba enzigi z'ekibuga Damasiko, ne mmalawo ab'omu Kiwonvu ky'e Aveni, n'omufuzi w'e Betedeni. Abantu b'omu Siriya balitwalibwa nga basibe mu nsi y'e Kiiri.”
Filistiya
6Mukama agamba nti: “Abantu b'omu Gaaza bakoze ebibi emirundi n'emirundi. N'olwekyo sirirema kubabonereza, kubanga baatwala abantu ab'omu ggwanga lyonna nga basibe, ne babatunda mu Edomu.#Laba ne Yis 14:29-31; Yer 47:1-7; Ezek 25:15-17; Yol 3:4-8; Zef 2:4-7; Zek 9:5-7 7Kyendiva nkoleeza omuliro ku kigo ky'ekibuga Gaaza, ne gwokya amayumba gaakyo. 8Ndimalawo abafuzi b'omu bibuga Asudoodi ne Asukelooni. Ndibonereza ekibuga Ekurooni, era n'Abafilistiya.”
Tiiro
9Mukama agamba nti: “Abantu b'omu Tiiro bakoze ebibi emirundi n'emirundi. N'olwekyo sirirema kubabonereza, kubanga baatwala abantu ab'omu ggwanga lyonna nga basibe, mu Edomu, ne batakuuma ndagaano ey'omukwano gye baakola nabo.#Laba ne Yis 23:1-18; Ezek 26:1–28:19; Yol 3:4-8; Zek 9:1-4; Mat 11:21-22; Luk 10:13-14 10Kyendiva nkoleeza omuliro ku bisenge by'ekibuga Tiiro, ne gwokya amayumba gaakyo.”
Edomu
11Mukama agamba nti: “Abantu b'omu Edomu bakoze ebibi emirundi n'emirundi. N'olwekyo sirirema kubabonereza, kubanga baayigganya baganda baabwe Abayisirayeli#1:11 Baganda baabwe: Abayisirayeli baasibuka mu Yakobo, muganda wa Esawu, asibukamu Abeedomu., ne babatta awatali kusaasira n'akatono. Obusungu bwabwe ne butakendeerako, ne babeera nabwo ennaku zonna.#Laba ne Yis 34:5-17; 63:1-6; Yer 49:7-22; Ezek 25:12-14 35:1-15; Ob 1-14; Mal 1:2-5 12Kyendiva nkoleeza omuliro ku kibuga Temani era gulyokya amayumba g'e Bozura.”
13Mukama agamba nti: “Abantu b'omu Ammoni bakoze ebibi emirundi n'emirundi. N'olwekyo sirirema kubabonereza, kubanga mu ntalo ze baalwana okugaziya ensi yaabwe, baabaaga abakazi b'e Gileyaadi abali embuto.#Laba ne Yer 49:1-6; Ezek 21:28-32; 25:1-7; Zef 2:8-11 14Kyendiva nkoleeza omuliro ku bisenge by'ekibuga Rabba ne gwokya amayumba gaakyo. Walibaawo okuleekaana ku lunaku olw'olutalo, era okulwana kuliwuuma nga kibuyaga. 15Kabaka waabwe aliwaŋŋangusibwa awamu n'abakungu be.”
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.