رفتن به محتوا

2 SAMWELI 9

9
Dawudi ne Mefiboseti
1Awo Dawudi n'abuuza nti: “Mu nnyumba ya Sawulo waliwo omuntu eyasigalawo, mmukolere eby'ekisa ku lwa Yonataani?”#Laba ne 1 Sam 20:15-17
2Waaliwo omuweereza ow'omu nnyumba ya Sawulo erinnya lye Ziba, ne bamuyita okugenda eri Dawudi. Kabaka n'amubuuza nti: “Ggwe Ziba?” N'amuddamu nti: “Nze wuuyo omuweereza wo.”
3Kabaka n'amubuuza nti: “Waliwo omuntu eyasigalawo mu nnyumba ya Sawulo, mmulage ekisa kya Katonda?” Ziba n'addamu kabaka nti: “Wakyaliyo mutabani wa Yonataani eyalemala amagulu.”#Laba ne 2 Sam 4:4 4Kabaka n'amubuuza nti: “Ali ludda wa?” Ziba n'amuddamu nti: “Ali mu nnyumba ya Makiri mutabani wa Ammiyeeli ow'omu Lodebari.” 5Awo kabaka Dawudi n'atumya Mefiboseti, ne bamuleeta nga bamuggya mu nnyumba ya Makiri mutabani wa Ammiyeeli ow'e Lodebari. 6Awo Mefiboseti mutabani wa Yonataani era muzzukulu wa Sawulo, n'ajja eri Dawudi, n'avuunama ku ttaka ne yeeyanza. Dawudi n'amugamba nti: 7“Totya. Nja kukukolera eby'ekisa ku lwa kitaawo Yonataani. Ndikuddiza ettaka lyonna erya jjajjaawo Sawulo, era onooliiranga wamu nange ku lujjuliro.”
8Mefiboseti ne yeeyanza, n'agamba nti:
“Nze ani omuweereza wo,
nze ani gw'olowoozaako,
nze ali ng'embwa efudde!”
9Awo kabaka n'ayita Ziba omuweereza wa Sawulo, n'amugamba nti: “Ebintu byonna ebyali ebya Sawulo n'ab'omu nnyumba ye, mbiwadde muzzukulu wa mukama wo oyo Sawulo. 10Ggwe, ne batabani bo, n'abaweereza bo, munaalimiranga ab'omu nnyumba ya mukama wo oyo ennimiro, mubatwalirenga bye mukungudde, bafune bye balya. Kyokka ye Mefiboseti yennyini, anaaliiranga wamu nange ku lujjuliro.” Ziba yalina batabani be kkumi na bataano, n'abaweereza amakumi abiri.
11Ziba n'agamba kabaka nti: “Mukama wange nja kukola byonna by'ondagidde.”
Awo kabaka n'agamba nti: “Mefiboseti, anaaliiranga ku lujjuliro lwange, ng'omu ku batabani ba kabaka.” 12Mefiboseti yalina mutabani we omuto erinnya lye Mikka. Era abo bonna abaabeeranga mu nnyumba ya Ziba, ne bafuuka baweereza ba Mefiboseti. 13Awo Mefiboseti eyali alwadde amagulu gombi, n'abeera mu Yerusaalemu, n'aliiranga ku lujjuliro lwa kabaka.