رفتن به محتوا

2 SAMWELI 10

10
Dawudi awangula Abammoni n'Abassiriya
(Laba ne 1 Byom 19:1-19)
1Awo Kabaka Nahasi ow'Abammoni n'afa, mutabani we Hanuni n'amusikira ku bwakabaka. 2Dawudi n'agamba nti “Ŋŋenda okulaga Hanuni mutabani wa Nahasi ekisa nga kitaawe bwe yandaga ekisa.” Dawudi n'amutumira abaweereza be okumukubagiza olw'okufiirwa kitaawe. Abaweereza ba Dawudi ne batuuka mu nsi y'Abammoni. 3Kyokka abakulembeze b'omu Ammoni ne bagamba mukama waabwe Hanuni nti: “Olowooza Dawudi okukutumira abaweereza bakukubagize, ddala aba assaamu kitaawo kitiibwa? Dawudi asindise bakessi bakette ekibuga era bakiwambe.”
4Hanuni n'akwata abaweereza ba Dawudi, buli omu n'amumwako ekirevu oludda olumu, n'abasalira ebyambalo byabwe wakati okukoma mu biwato byabwe, n'abasiibula. 5Dawudi ekyo bwe baakimubuulira, n'abatumira abantu okubasisinkana, kubanga abasajja abo baali bakwatiddwa nnyo ensonyi okudda ewaabwe. Kabaka n'agamba nti: “Musigale e Yeriko okutuusa ebirevu byammwe nga bimaze okukula, mulyoke mukomewo.”
6Awo Abammoni ne balaba nga beekyayisizza Dawudi. Kyebaava batumira Abasiriya ab'e Betirehobu n'e Zoba, okubagulirira babawe abaserikale emitwalo ebiri ab'ebigere, ne Kabaka Maaka aleete abasajja lukumi, n'ab'e Tobu baleete abasajja omutwalo gumu mu enkumi bbiri. 7Dawudi bwe yakiwulira, n'aweereza Yowaabu n'eggye lyonna ery'abasajja ab'amaanyi. 8Abammoni ne bafuluma ne beeteekerateekera olutalo ku mulyango gw'ekibuga kyabwe ekikulu. Ate bo Abasiriya abaava e Zoba n'e Rehobu, n'abasajja abaava e Tobu n'aba Maaka, ne baba bokka mu kitundu eky'ettale.
9Yowaabu bwe yalaba ng'abalabe bajja kumulumba nga bafuluma mu maaso n'emabega we, n'alonda mu basajja ba Yisirayeli abasinga obuzira, n'abategeka okwolekera Abasiriya. 10Basajja be abaasigalawo n'abakwasa muganda we Abisaayi, n'abategeka okwolekera Abammoni. 11Yowaabu n'agamba Abisaayi nti: “Abasiriya bwe banansinza amaanyi onojja n'onnyamba, naawe Abammoni bwe banaakusinza amaanyi, najja ne nkuyamba. 12Ddamu amaanyi, tulwane masajja ku lw'abantu baffe n'ebibuga bya Katonda waffe. Mukama akole nga bw'asiima.”
13Yowaabu ne basajja be ne basembera okulwanyisa Abassiriya, Abasiriya ne badduka. 14Abammoni bwe baalaba ng'Abassiriya badduse, nabo ne badduka Abisaayi, ne bayingira mu kibuga. Awo Yowaabu n'alyoka ava ku kulwanyisa Abammoni, n'agenda e Yerusaalemu.
15Abasiriya bwe baalaba nga bawanguddwa Abayisirayeli, ne beekuŋŋaanya wamu. 16Kabaka Hadadezeri n'atumya era n'aggyayo Abasiriya abaali ebuvanjuba w'Omugga Ewufuraate, ne bajja mu Eramu nga bakulembeddwamu Sobaki omuduumizi w'eggye lya Hadadezeri. 17Dawudi bwe baamubuulira, n'akuŋŋaanya eggye lya Yisirayeli lyonna, n'asomoka Omugga Yorudaani, n'ajja mu Eramu. Abasiriya ne beetegeka okwolekera Dawudi ne bamulwanyisa. 18Abasiriya ne badduka Abayisirayeli. Dawudi ne basajja be ne batta Abasiriya lusanvu abavuzi b'amagaali, n'abasajja emitwalo ena abeebagala embalaasi, n'afumita Sobaki omuduumizi w'eggye lyabwe, n'afiira mu ddwaniro. 19Bakabaka bonna abaaweerezanga Hadadezeri bwe baalaba nga bawanguddwa Abayisirayeli, ne bakola endagaano ey'emirembe n'Abayisirayeli, ne bafuuka baweereza baabwe. Awo Abasiriya ne batya okuyamba Abammoni omulundi omulala.