رفتن به محتوا

2 SAMWELI 8

8
Entalo Dawudi ze yawangula
(Laba ne 1 Byom 18:1-17)
1Ebyo bwe byaggwa, Dawudi n'alwanyisa Abafilistiya n'abawangula, era n'abawambako Ekibuga Metegamma.
2Awo n'awangula Abamowaabu, n'abagalamiza wansi mu nnyiriri ssatu, n'attako ennyiriri bbiri n'alekawo lumu. Awo Abamowaabu ne baba abaweereza ba Dawudi ne bamuwanga emisolo.
3Dawudi era n'awangula ne Hadadezeri mutabani wa Rehobu kabaka w'e Zoba, Hadadezeri oyo bwe yali ng'agenda okujeemulula amatwale ge engulu w'Omugga Ewufuraate. 4Dawudi n'amuwambako abaserikale lukumi mu lusanvu abeebagala embalaasi, n'abalala emitwalo ebiri ab'ebigere. Embalaasi zonna ezisika amagaali, Dawudi n'azitema enteega, okuggyako ezo zokka ezimala okusika amagaali ge ekikumi. Ezo ze yalekawo.
5Abasiriya ab'e Damasiko bwe bajja okudduukirira Hadadezeri kabaka w'e Zoba, Dawudi n'abattamu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi bbiri. 6Dawudi n'ateeka enkambi z'abaserikale mu Aramu eky'omu Damasiko, Abasiriya ne bafuuka abaddu be, ne bamuwanga omusolo. Mukama n'awa Dawudi obuwanguzi buli gye yagendanga. 7Dawudi n'anyaga engabo za zaabu abaweereza ba Hadadezeri ze baalina, n'azitwala e Yerusaalemu. 8N'aggya ekikomo kingi mu bibuga Beeta ne Berotayi ebyafugibwanga Hadadezeri.
9Toyi kabaka we Hamati bwe yawulira nti Dawudi awangudde eggye lya Hadadezeri lyonna, 10n'atuma mutabani we Yoraamu eri kabaka Dawudi okumulamusa n'okumukulisa okuwangula Hadadezeri, kubanga Hadadezeri yali mulabe wa Toyi. Yoraamu oyo n'aleetera Dawudi ebirabo ebya ffeeza, n'ebya zaabu, n'ekikomo. 11N'ebyo Kabaka Dawudi n'abiwongera Mukama, wamu ne ffeeza ne zaabu bye yawonga ng'abiggye mu mawanga gonna ge yawamba: 12erya Siriya, Mowaabu, Ammoni, Filistiya, ne Amaleki, ne ku munyago gwe yaggya ku Hadadezeri, mutabani wa Rehobu, kabaka w'e Zoba.
13Dawudi n'ayatiikirira bwe yakomawo ng'amaze okutta Abassiriya omutwalo gumu mu kanaana, mu Kiwonvu eky'Omunnyo.#Laba ne Zab 60:1 14N'ateeka enkambi z'abaserikale wonna mu Edomu, ab'omu Edomu ne bafuuka baddu be. Mukama n'awa Dawudi obuwanguzi buli gye yagendanga.
15Dawudi n'akulembera Yisirayeli yonna, era n'afuganga abantu be mu mazima n'obwenkanya. 16Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ye yali omuduumizi w'eggye ow'oku ntikko, Yehosafaati mutabani wa Ahiluudi, ye yawandiikanga ebyabangawo. 17Zaddooki mutabani wa Ahituubu ne Ahimeleki mutabani wa Abiyataari, be baali bakabona. Seraya ye yali omuwandiisi. 18Benaaya mutabani wa Yehoyaada, ye yali akulira abakuumi ba Dawudi Abakereti n'Abapeleti#8:18 Abakereti n'Abapeleti: Baali bakuumi ba Dawudi abapangise okuva mu “Bantu b'oku nnyanja” abatali Bayisirayeli.. Bo batabani ba Dawudi baali bawi ba magezi.