2 SAMWELI 7
7
Obubaka Natani bwe yaleetera Dawudi
(Laba ne 1 Byom 17:1-15)
1Awo olwatuuka Dawudi n'akkalira mu lubiri lwe, era Mukama n'amuwonya okutawaanyizibwa abalabe be bonna abamwetoolodde. 2Dawudi n'agamba omulanzi Natani nti: “Laba nze nsula mu nnyumba ey'emivule, naye Essanduuko ya Katonda ebeera mu weema!” 3Awo Natani n'agamba kabaka nti: “Genda okole ekikuli ku mutima, kubanga Mukama ali wamu naawe.” 4Naye ekiro ekyo Mukama n'agamba Natani nti: 5“Genda ogambe omuweereza wange Dawudi nti: ‘Mukama agamba nti: Si ggwe ogenda okunzimbira ennyumba mwe nnaabeeranga. 6Okuviira ddala ku lunaku lwe naggya Abayisirayeli mu Misiri n'okutuusa kati, sibeerangako mu nnyumba, wabula natambuliranga mu weema. 7Mu bifo byonna mwe natambulira n'Abayisirayeli bonna, ssaabuuzaako kika na kimu ekya Yisirayeli kye nalonda okulabirira abantu bange Abayisirayeli nti lwaki tebanzimbira nnyumba ya mivule.’
8“Kale nno gamba omuweereza wange Dawudi nti: Nze Mukama Nnannyinimagye mmugamba nti: ‘Nakuggya ku gw'okulundanga endiga mu ttale, ne nkufuula omukulembeze w'abantu bange Abayisirayeli. 9Era nabanga naawe buli gye wagendanga yonna, ne nsaanyaawo abalabe bo bonna ng'olaba. Era ndikufuula wa ttutumu ng'abafuzi abatutumufu ennyo mu nsi. 10Ntegekedde abantu bange Abayisirayeli ekifo, ne mbateekamu, babeerenga omwo nga kyabwe, balemenga kuddamu kutawaanyizibwa, era ng'abantu ababi tebakyababonyaabonya 11nga bwe gwali we nateekerawo abalamuzi okufuganga abantu bange Abayisirayeli. Era ndikuwonya okutawaanyizibwa abalabe bo bonna. N'ekirala Nze Mukama nkugamba nti: ndikwaliza ezzadde. 12Ennaku zo bwe ziriggwaako, n'ogenda eri bajjajjaabo, omu ku baana bo be weezaalira, ndimussaawo okuba kabaka, era ndinyweza obwakabaka bwe.#Laba ne Zab 89:3-4; 132:11; Yow 7:42; Bik 2:30 13Oyo ye alinzimbira ennyumba, era ndinyweza entebe ye ey'obwakabaka emirembe gyonna. 14Ndiba kitaawe, ye n'aba mwana wange. Bw'anaakolanga ekitali kituufu, nnaamukangavvulanga ng'omuzadde bw'akangavvula omwana we,#Laba ne Zab 89:26-27; 2 Kor 6:18; Beb 1:5 15kyokka siirekengayo kumukwatirwa kisa, nga bwe nalekayo okukikwatirwa Sawulo, gwe naggyawo, ggwe olyoke ofuuke kabaka. 16Ezzadde lyo n'obwakabaka bwo birifuuka bya nkalakkalira emirembe gyonna, mu maaso gange, n'entebe yo ey'obwakabaka erinywezebwa ennaku zonna.’ ”#Laba ne Zab 89:36-37
17Awo Natani n'abuulira Dawudi byonna nga Mukama bwe yabimugamba, era nga bwe yabimulaga.
Dawudi yeebaza Mukama
(Laba ne 1 Byom 17:16-27)
18Awo kabaka Dawudi n'ayingira mu Weema, n'atuula mu maaso ga Mukama, n'agamba nti: “Ayi Mukama Katonda, nze n'ab'ennyumba yange tetusaanidde bino byonna bye wankolera. 19Naye n'ekyo, ayi Mukama Katonda, kikyali kitono mu maaso go, kubanga era osuubizza bingi ezzadde lyange ery'omu maaso. Kale ekyo okimanyisa omuntu, ayi Mukama Katonda! 20Ate kiki ekirala nze Dawudi kye nnyinza okukugamba? Ommanyi nze omuweereza wo Ayi Mukama Katonda. 21Okoze ekintu kikulu okumanyisa nze omuweereza wo, ekyo ky'osuubiza ng'okiggya mu mutima gwo. 22N'olwekyo oli mukulu, ayi Mukama Katonda! Tetuwulirangako nga waliwo akwenkana, era oba nti waliwo Katonda omulala okuggyako ggwe. 23Era ggwanga ki eddala ku nsi eriri ng'ery'abantu bo Abayisirayeli, ggwe Katonda be wanunula okuba abantu bo! Ebintu ebikulu n'ebyewuunyo bye wabakolera, byayatiikiriza erinnya lyo mu nsi yonna. Wagoba ab'amawanga amalala ne balubaale baabwe, ne basegulira abantu be weenunulira okuva e Misiri.#Laba ne Ma 4:34 24Abayisirayeli wabafuula abantu bo emirembe gyonna, era naawe Mukama n'ofuuka Katonda waabwe.
25“Era kaakano, ayi Mukama Katonda, nywezanga ennaku zonna ky'osuubizza nze omuweereza wo n'ab'ennyumba yange, era okole nga bw'ogambye. 26Ogulumizibwe emirembe gyonna, nga bagamba nti: ‘Mukama Nnannyinimagye ye Katonda afuga Yisirayeli.’ Era onyweze ab'ennyumba yange emirembe gyonna, 27Ayi Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, nze omuweereza wo ŋŋumye okukusinza bwe nti, kubanga ombikkulidde bino byonna, n'oŋŋamba nti bazzukulu bange olibafuula bakabaka.
28“Era kaakano, Mukama, Afugabyonna, ggwe Katonda; ebigambo byo bya mazima, era osuubizza nze omuweereza wo ebintu ebirungi. 29Nkusaba owe omukisa ab'ennyumba yange nze omuweereza wo, balyoke beeyongere okuganja mu maaso go ennaku zonna. Ayi Mukama Katonda, ab'ennyumba yange obawenga omukisa gwo emirembe gyonna, kubanga kino ggwe okisuubizza.”
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.