رفتن به محتوا

2 EBYOMUMIREMBE 3

3
1Ssekabaka Dawudi kitaawe wa Solomooni, yali ateeseteese ekifo eky'okuzimbamu Essinzizo. Kyali mu Yerusaalemu ku lusozi Moriya, Mukama we yamulabikira. Kye kifo Arunaani Omuyebusi kye yali akozesa ng'egguuliro. Solomooni n'atandika okuzimba#Laba ne Nta 22:2 2mu mwezi ogwokubiri ogw'omwaka ogwokuna okuva lwe yalya obwakabaka. 3Essinzizo Solomooni lye yazimba, ebipimo byalyo, lyali lya mita amakumi abiri mu musanvu obuwanvu, ne mita mwenda obugazi. 4Ekisasi eky'omu maaso kyali kyenkana obugazi bwonna obw'Essinzizo, ze mita mwenda, ate mita ataano mu nnya obugulumivu. Ekisenge munda yakibikkako zaabu omulongoose. 5Ekisenge ekinene n'akibikkako embaawo ez'emiberosi, nga kungulu zibikkiddwako zaabu omulongoose, n'akolako ebifaananyi eby'enkindu n'eby'emikuufu. 6N'awunda Essinzizo n'amayinja ag'omuwendo ennyo ne zaabu eyaggyibwa mu nsi y'e Paruvayimu. 7Yakozesa zaabu okubikka ebisenge by'Essinzizo, n'emirabba gyalyo, n'emiryango, era n'enzigi. Ku bisenge n'akolako bakerubi#3:7 Bakerubi: Mu biwandiiko eby'edda, bye bifaananyi by'ebiramu ebirina ebiwaawaatiro. 8N'azimba ekisenge ekyomunda ekiyitibwa Ekifo Ekitukuvu Ennyo, obuwanvu bwakyo nga bwenkana n'obugazi bw'Essinzizo: mita mwenda mwenda. Zaabu aweza talanta lukaaga ye yakozesebwa okubikka ebisenge by'Ekifo Ekitukuvu Ennyo.#Laba ne Kuv 26:33-34 9Emisumaali egya zaabu gyalimu obuzito bwa gulaamu bitaano mu nsanvu. Era n'ebisenge ebya kalina byabikkibwako zaabu.
10Mu Kifo Ekitukuvu Ennyo n'akolamu ebifaananyi bya bakerubi bibiri eby'ekyuma ne bibikkibwako zaabu.#Laba ne Kuv 25:18-20 11Ebiwaawaatiro bya bakerubi abo bombi, byonna awamu nga byanjuluziddwa, byali biweza obuwanvu bwa mita mwenda. Ekiwaawaatiro eky'omu, kyali kya mita bbiri n'obutundu bubiri, nga kituuka ku kisenge ky'Essinzizo, n'ekiwaawaatiro kye ekirala, nakyo kya mita bbiri n'obutundu bubiri, nga kikwata ku kiwaawaatiro kya kerubi munne. 12Ekiwaawaatiro kya kerubi omulala, nakyo kyali kya mita bbiri n'obutundu bubiri, nga kituuka ku kisenge ky'Essinzizo. Ate ekiwaawaatiro kye ekirala, nakyo kya mita bbiri n'obutundu bubiri, nga kikwata ku kiwaawaatiro kya kerubi munne. 13Ebiwaawaatiro bya bakerubi bombi nga byanjuluziddwa, byali biweza mita mwenda. Bakerubi abo baali bayimiridde nga batunuulidde mu kisenge ky'Essinzizo ekya wakati. 14N'akola olutimbe olw'Ekifo Ekitukuvu, mu lugoye olwa bbululu, ne kakobe, n'olumyufu n'olweru, ng'alukozeeko bakerubi.#Laba ne Kuv 26:31
Empagi ez'ekikomo
(Laba ne 1 Bassek 7:15-22)
15Mu maaso g'Essinzizo, kabaka n'akolawo empagi bbiri, nga za mita kkumi na ttaano n'ekitundu obugulumivu, era nga buli emu eriko omutwe gwa mita bbiri n'obutundu bubiri obuwanvu. 16Ku ntikko ya buli mpagi, n'akolako ebifaananyi eby'emikuufu, n'ebifaananyi eby'amakomamawanga kikumi ag'ekikomo g'atadde ku mikuufu. 17Empagi ezo n'azisimba mu maaso g'Essinzizo, emu ku ludda olwa ddyo, n'endala ku lwa kkono. Ey'oku ludda olwa ddyo n'agituuma Yakini#3:17 Yakini: Mu Lwebureeyi “Jachin”, amakulu nti (Katonda) akola., ey'oku kkono n'agituuma Bowaazi#3:17 Bowaazi: Mu Lwebureeyi “Boaz”, kwe kugamba nti (akola) n'amaanyi ge.