رفتن به محتوا

2 EBYOMUMIREMBE 4

4
Ebintu by'Essinzizo
(Laba ne 1 Bassek 7:23-51)
1Kabaka Solomooni n'akola alutaari ey'ekikomo, nga ya mita mwenda obugazi, mita mwenda obuwanvu, ne mita nnya n'ekitundu obugulumivu.#Laba ne Kuv 27:1-2 2Era n'aweesa ogutanka gw'amazzi ogunene ogwekulungirivu ogw'ekikomo, nga gwa mita nnya n'ekitundu okuva ku mugo okutuuka ku mugo, mita bbiri n'obutundu bubiri obugulumivu, era nga gupimwako mita kkumi na ssatu n'ekitundu okugwetooloola. 3Okwetooloola ebweru w'omugo gwagwo, waaliwo embu bbiri ez'ebifaananyi by'ente, ebigwetooloolera ddala emikono amakumi asatu, nga byaweesebwa wamu nagwo. 4Ogutanka ogwo ogunene, gwatuuzibwa ku bifaananyi by'ente kkumi na bibiri eby'ekikomo, ebitunuulidde ebweru: ebisatu nga bitunuulidde mu bukiikakkono, ebisatu ebugwanjuba, ebisatu mu bukiikaddyo, n'ebisatu ebuvanjuba, emikira gyabyo nga gye giri munda. 5Omubiri gw'ogutanka ogunene gwali gwa luta lumu. Omugo gwagwo gwali gukoleddwa ng'ogw'ekibya, era nga gweyanjuluzza ng'ekimuli ky'amalanga. Ogutanka gwonna gwali gugyamu lita emitwalo nga mukaaga mu kakaaga. 6Era n'akola ebbenseni kkumi, ettaano n'aziteeka ku ludda olwa ddyo olw'Essinzizo, n'ettaano ku lwa kkono. Zaali za kwolezaamu bintu ebikozesebwa ku bitambiro ebyokebwa. Amazzi mu gutanka ogunene ge gaali aga bakabona ag'okunaaba.#Laba ne Kuv 30:17-21
7N'akola ebikondo by'ettaala kkumi ebya zaabu, nga bwe byali biteekwa okukolebwa, n'abiteeka mu Ssinzizo, bitaano ku ludda olwa ddyo, n'ebitaano ku lwa kkono.#Laba ne Kuv 25:31-40 8Era n'akola emmeeza kkumi, n'aziteeka mu Ssinzizo, ttaano ku ludda olwa ddyo, n'ettaano ku lwa kkono. N'akola n'ebibya kkumi ebya zaabu.#Laba ne Kuv 25:23-30
9Era n'akola oluggya olwa bakabona, n'oluggya olunene, enzigi zaazo n'azibikkako ekikomo. 10Ogutanka ogunene n'aguteeka ku ludda olwa ddyo, olw'ebuvanjuba bw'Essinzizo.
11Huramu n'akola entamu n'ebijiiko n'ebibya. N'amaliriza ebintu byonna bye yakolera Kabaka Solomooni mu Ssinzizo: 12empagi ebbiri, emitwe ebiri egikoleddwa ng'ebibya ku ntikko z'empagi, ebifaananyi by'emikuufu egitimbiddwa ku ntikko ya buli mpagi; 13amakomamawanga ebikumi ebina ag'ekikomo agateekeddwa mu mbu ebbiri okwetooloola emikuufu egyali ku mutwe ogwa buli mpagi. 14N'akola ebituuti kkumi, n'ebbenseni ku bituuti ebyo, 15ogutanka ogunene, n'ente ekkumi n'ebbiri kwe gutuuziddwa; 16entamu, n'ebijiiko, n'ewuuma ezikwata ennyama.
Huramu omukozi w'eby'emikono omwatiikirivu, n'akolera Solomooni ebintu ebyo byonna eby'ekikomo ekizigule, eby'okukozesanga mu Ssinzizo. 17Ebintu ebyo Kabaka yabikolera mu lusenyi lwa Yorudaani, awali ettaka ery'ebbumba, wakati wa Sukkoti ne Zerida. 18Ebintu ebyo byonna Solomooni bye yakola, byali bingi nnyo, obuzito bw'ekikomo ekyakozesebwa ne batabupima.
19Solomooni n'akola n'ebintu byonna eby'okukozesebwanga mu Ssinzizo: alutaari eya zaabu n'emmeeza okuteekebwa emigaati egiweebwayo eri Katonda; 20ebikondo by'ettaala n'ettaala zaabyo ez'okwakiranga mu maaso g'Ekifo Ekitukuvu ng'enkola bwe yali, byali bya zaabu omulongoose, 21n'ebitimbibwa, ebikoleddwa ng'ebimuli, ettaala, ne makansi nga bya zaabu omulungi ennyo, 22eby'okukoleeza ettaala, n'okuzizikiza, n'ebibya, n'essowaani z'obubaane, n'ensaniya okuteekebwa evvu, byonna byakolebwa mu zaabu omulongoose. N'enzigi z'Essinzizo ez'ebweru, n'ezoomunda ez'Ekifo Ekitukuvu ennyo, nazo zaali za zaabu.