رفتن به محتوا

2 EBYOMUMIREMBE 2

2
Okuteekateeka okuzimba Essinzizo
(Laba ne 1 Bassek 5:1-18)
1Awo Solomooni n'ateekateeka okuzimba Essinzizo ery'okusinzizangamu Mukama, era n'okwezimbira olubiri. 2N'alonda abasajja emitwalo musanvu ab'okwetikkanga eby'okuzimbisa, n'abasajja emitwalo munaana ab'okwasanga amayinja mu nsozi, n'abasajja enkumi ssatu mu lukaaga ab'okulabiriranga omulimu. 3Solomooni n'aweereza Hiraamu, kabaka w'e Tiiro obubaka buno nti: “Kolagana nange nga bwe wakolagananga ne kitange Dawudi, n'omuweerezanga emivule gye yazimbisa olubiri lwe. 4Kaakano nteekateeka okuzimbira Mukama Katonda wange Essinzizo ery'okumuweesa ekitiibwa. Essinzizo lino lijja kumuwongerwa, libe ery'okwoterezangamu obubaane obw'akawoowo w'ali, n'okumuweerangamu ebitambiro ebyokebwa enkya n'akawungeezi, ne ku Sabbaato, ne ku mbaga ez'okuboneka kw'omwezi, ne ku nnaku endala ze tuweerako Mukama Katonda waffe ekitiibwa, nga bwe yalagira Abayisirayeli okukolanga emirembe gyonna. 5Era Essinzizo lye nteekateeka okuzimba ddene, kubanga Katonda waffe mukulu, tewali amwenkana. 6Naye ani ayinza okumuzimbira essinzizo, nga n'eggulu lyennyini eryenkanidde awo obunene taligyamu? Nze ani okuzimba ekifo aw'okwotereza obubaane mu maaso ge?#Laba ne 1 Bassek 8:27; 2 Byom 6:18 7Kale kaakano mpeereza omuntu amanyi okuweesa ebya zaabu n'ebya ffeeza n'eby'ekikomo n'eby'ekyuma, n'okukola eby'engoye eza bbululu n'eza kakobe n'emmyufu, era omukugu mu kusala amayinja, akolere wamu n'abakozi bange abakugu wano mu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu, kitange be yateekateeka. 8Mpeereza emivule n'emiberosi n'emitoogo okuva mu Lebanooni, kubanga mmanyi nti basajja bo bamanyirivu mu kutema emiti eyo mu Lebanooni. Basajja bange banaakolera wamu n'ababo, 9okunteekerateekera emiti mingi, kubanga Essinzizo lye ŋŋenda okuzimba lijja kuba ddene ddala. 10Basajja bo abatema emiti, nja kubafunira kilo z'eŋŋaano emitwalo ebiri, kilo za bbaale emitwalo ebiri, lita z'omwenge gw'emizabbibu emitwalo ebiri, ne lita z'omuzigo emitwalo ebiri.”
11Awo Hiraamu kabaka w'e Tiiro n'awandiikira Solomooni ebbaluwa emuddamu ng'egamba nti: “Kubanga Mukama ayagala abantu be, kyavudde akufuula Kabaka waabwe. 12Mukama Katonda wa Yisirayeli agulumizibwe. Omutonzi w'eggulu n'ensi, awadde Kabaka Dawudi omwana omutegeevu era alina amagezi n'okumanya, era kaakano ateeseteese okuzimbira Mukama Essinzizo, n'okwezimbira olubiri. 13Kale nkuweerezza omuntu omugezi ayitibwa Huramu. 14Nnyina wa mu Kika kya Daani, kitaawe mutuuze w'e Tiiro. Mukugu mu kukola ebya zaabu n'ebya ffeeza, eby'ekikomo n'eby'ekyuma, eby'amayinja n'eby'emiti. Asobola okukola engoye eza bbululu, n'eza kakobe n'emmyufu, n'eza kitaani ennungi. Era mukugu mu kuyola okwa buli ngeri, ng'asobola n'okukola omusono gwonna oguba gumuweereddwa. Mmukuweerezza akole nga bali wamu n'abantu bo abakugu, era n'abo abaakoleranga mukama wange, kitaawo Dawudi. 15Kale kaakano tuweereze eŋŋaano ne bbaale, n'omuzigo, n'omwenge ogw'emizabbibu, bye wasuubiza. 16Abasajja bange bajja kutema emiti gy'oyagala okuva mu nsozi za Lebanooni. Nja kugisengeka ngisibe ng'ekibaya, ngisse ku nnyanja, gisobole okuseeyeeya okutuuka e Yoppa. Eyo nno gy'oligiggya okugitwala e Yerusaalemu.”
Okutandika okuzimba Essinzizo
(Laba ne 1 Bassek 6:1-38)
17Awo Solomooni n'assaawo okubala abagwira bonna abaali mu Yisirayeli, nga Dawudi kitaawe bwe yali akoze. Abagwira bonna baali emitwalo kkumi n'etaano, mu enkumi ssatu mu lukaaga. 18Ku bo, abantu emitwalo musanvu n'abateeka ku mulimu gw'okwetikka eby'okuzimbisa, ate emitwalo munaana n'abateeka ku gwa kwasa mayinja mu nsozi, ate enkumi ssatu mu lukaaga n'abawa gwa kubalabirira nga bakola.