YouVersion Logo
Search Icon

MATAYO 3

3
Yowanne Omubatiza
(Laba ne Mak 1:1-8; Luk 3:1-18; Yow 1:19-28)
1Mu nnaku ezo, Yowanne Omubatiza n'ajja mu ddungu ery'e Buyudaaya, 2n'ategeeza abantu nti: “Mwenenye, kubanga Obwakabaka obw'omu ggulu busembedde.”#Laba ne Mat 4:17; Mak 1:15 3Yowanne ye wuuyo Yisaaya omulanzi gw'ayogerako nti:
“Waliwo ayogerera mu ddungu
n'eddoboozi ery'omwanguka nti:
‘Mulongoose oluguudo lwa Mukama,
mutereeze amakubo ge.’ ”#Laba ne Yis 40:3
4Yowanne ono yayambalanga ekyambalo ekyakolebwa mu byoya by'eŋŋamiya, nga yeesiba olukoba olw'eddiba mu kiwato. Yalyanga nzige n'omubisi gw'enjuki ez'omu ttale.#Laba ne 2 Bassek 1:8 5Abantu baavanga e Yerusaalemu ne mu Buyudaaya bwonna, ne mu kitundu ekiriraanye Omugga Yorudaani, ne bajja gy'ali. 6Ne baatula ebibi byabwe, n'ababatiza mu mugga Yorudaani.
7Bwe yalaba ng'Abafarisaayo bangi n'Abasaddukaayo bajja gy'ali okubatizibwa, n'abagamba nti: “Mmwe abaana b'emisota egy'obusagwa, ani abalabudde nti eno y'engeri ey'okudduka obusungu bwa Katonda obugenda okujja?#Laba ne Mat 12:34; 23:33 8Mukole bikolwa ebiraga nti mwenenyezza ebibi byammwe. 9Era muleke kweyinula nga mugamba nti: ‘Tulina kitaffe Aburahamu.’ Kubanga mbagamba nti Katonda asobola okufunira Aburahamu abaana ng'abaggya mu mayinja gano.#Laba ne Yow 8:33 10Mufaanaanyirizibwa n'emiti: kati embazzi eteekeddwa ku kikolo kya buli muti. Ogwo ogutabala bibala birungi gujja kutemebwa, era gusuulibwe mu muliro.#Laba ne Mat 7:19 11Nze mbabatiza na mazzi okulaga nti mwenenyezza, kyokka oyo anvaako emabega, ye ansinga obuyinza, sisaanira na kukwata ngatto ze. Oyo alibabatiza na Mwoyo Mutuukirivu era na muliro. 12Akutte mu ngalo olugali, ayawule empeke n'ebisusunku, empeke azikuŋŋaanyize mu tterekero, ate byo ebisusunku abyokye n'omuliro ogutazikira.”
Okubatizibwa kwa Yesu
(Laba ne Mak 1:9-11; Luk 3:21-22)
13Awo Yesu n'ava e Galilaaya, n'atuuka ku Mugga Yorudaani eri Yowanne, abatizibwe Yowanne. 14Kyokka Yowanne n'agezaako okumuziyiza ng'agamba nti: “Nze nanditeekeddwa okubatizibwa ggwe, naye ate ggwe ojja gye ndi?”
15Yesu n'amuddamu nti: “Leka kibe bwe kityo kaakano, kubanga mu ngeri eno tujja kutuukiriza ekyo Katonda ky'ayagala.” Awo Yowanne n'akkiriza. 16Yesu bwe yamala okubatizibwa, amangwago n'ava mu mazzi, awo eggulu ne libikkuka, n'alaba Mwoyo wa Katonda ng'akka ng'ejjiba, ng'ajja ku ye. 17Era eddoboozi ne liva mu ggulu, ne ligamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa era gwe nsiimira ddala.”#Laba ne Nta 22:2; Zab 2:7; Yis 42:1; Mat 12:18; 17:5; Mak 1:11 Luk 9:35

Currently Selected:

MATAYO 3: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy