MATAYO 2
2
Abagenyi abaava ebuvanjuba
1Awo Yesu bwe yazaalibwa e Betilehemu, ekibuga eky'omu Buyudaaya, mu kiseera ekyo nga Herode ye Kabaka, abasajja abeetegereza eby'emmunyeenye ne bava ebuvanjuba, ne bajja e Yerusaalemu, 2ne babuuza nti: “Kabaka w'Abayudaaya azaaliddwa ali ludda wa? Twalaba emmunyeenye ye mu buvanjuba, ne tujja okumusinza.”
3Herode kabaka bwe yawulira, ne yeeraliikirira, era n'abalala bonna mu Yerusaalemu ne beeraliikirira. 4N'akuŋŋaanya bakabona abakulu bonna, n'abakugu abannyonnyola abantu amateeka, n'ababuuza nti: “Kristo wa kuzaalibwa wa?” 5Bo ne bamugamba nti: “Mu Betilehemu, ekibuga ky'omu Buyudaaya, kubanga bwe kityo bwe kyawandiikibwa omulanzi nti:
6‘Naawe Betilehemu mu nsi ya Yuda,
si ggwe osembayo mu balangira ba Yuda,
kubanga mu ggwe mulivaamu omukulembeze,
alirabirira abantu bange Yisirayeli.’ ”#Laba ne Mi 5:1
7Awo Herode n'ayita mu kyama abasajja abeetegereza eby'emmunyeenye, n'ababuuza n'obwegendereza ekiseera kyennyini emmunyeenye kye yalabikiramu. 8N'abasindika e Betilehemu, n'abagamba nti: “Mugende mubuulirize nnyo ku mwana oyo, era nga mumulabye, muntegeeze, nange ŋŋende mmusinze.”
9Bwe baamala okuwulira ebya kabaka, ne bagenda. Awo ne baddamu okulaba emmunyeenye gye baalaba ebuvanjuba, n'ebakulembera okutuusa lwe yajja n'eyimirira waggulu w'ekifo awali omwana. 10Bwe baalaba emmunyeenye, ne basanyuka nnyo nnyini ddala. 11Ne bayingira mu nnyumba, ne balaba omwana ng'ali ne Mariya nnyina. Ne bafukamira ne basinza omwana, ne basumulula ensawo zaabwe, ne bamutonera ebirabo: zaabu, obubaane n'ebyakawoowo ebiyitibwa mirra.
12Katonda bwe yabalabulira mu kirooto obutaddayo ewa Herode, ne bakwata ekkubo eddala, ne baddayo ewaabwe.
Okuddukira e Misiri
13Bwe baamala okugenda, malayika wa Mukama n'alabikira Yosefu mu kirooto, n'amugamba nti: “Golokoka, otwale omwana ne nnyina, oddukire e Misiri, obeere eyo okutuusa lwe ndikugamba okuvaayo, kubanga Herode ajja okunoonya omwana okumutta.”
14Awo Yosefu n'agolokoka, n'atwala omwana ne nnyina ekiro, n'alaga e Misiri. 15N'abeera eyo okutuusa Herode lwe yafa. Kino kyali bwe kityo, Mukama kye yayogerera mu mulanzi kiryoke kituukirire, ekigamba nti: “Nayita omwana wange ave mu Misiri.”#Laba ne Hos 11:1
Okutta abaana abato
16Awo Herode bwe yalaba ng'abasajja abeetegereza eby'emmunyeenye bamutebuse, n'asunguwala nnyo, n'alagira okutta abaana ab'obulenzi bonna abaali e Betilehemu ne ku miriraano gyakyo, ab'emyaka ebiri, n'abaali batannagiweza, okusinziira ku kiseera kye yabuuliriza ku basajja abeetegereza eby'emmunyeenye.
17Awo ekyo omulanzi Yeremiya kye yayogera ne kituukirira, bwe yagamba nti:
18“Mu Raama baawulira eddoboozi,
okukaaba n'okukungubaga okungi,
Raakeeli ng'akaabira abaana be
era nga tayagala akubagizibwe,
kubanga tebakyaliwo.”#Laba ne Yer 31:15
Okuva e Misiri
19Awo Herode bwe yamala okufa, malayika wa Mukama n'alabikira Yosefu mu kirooto e Misiri, 20n'agamba nti: “Golokoka, otwale omwana ne nnyina, olage mu nsi ya Yisirayeli, kubanga abaali banoonya omwana okumutta bafudde.” 21Awo Yosefu n'agolokoka, n'atwala omwana ne nnyina, n'ajja mu nsi Yisirayeli.
22Kyokka bwe yawulira nti Arukyelawo ye kabaka wa Buyudaaya, ng'asikidde kitaawe Herode, n'atya okulaga eyo. Awo Katonda bwe yamulabulira mu kirooto, n'alaga mu kitundu ky'e Galilaaya. 23N'ajja n'abeera mu kabuga akayitibwa Nazaareeti. Kino kyaba bwe kityo, abalanzi kye baayogera kiryoke kituukirire nti: “Aliyitibwa Munnazareeti.”#Laba ne Mak 1:24; Luk 2:39; Yow 1:45
Currently Selected:
MATAYO 2: LB03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.