TITO 1
1
Okulamusa
1Nze Pawulo omuweereza wa Katonda, era omutume wa Yesu Kristo. Natumibwa nnyongere mu balondemu ba Katonda okukkiriza, era mbamanyise amazima g'eddiini yaffe, 2ageesigamye ku kusuubira obulamu obutaggwaawo, Katonda atayinza kulimba bwe yatusuubiza okuva edda n'edda lyonna. 3Ekiseera bwe kyatuuka, obulamu obwo n'abulagira mu bigambo, bye yankwasa mbitegeeze abantu, nga Katonda Omulokozi waffe bwe yalagira.
4Nkuwandiikira ggwe Tito omwana wange ddala, mu kukkiriza kwaffe ffenna. Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Mukama waffe bakukwatirwe ekisa, era bakuwe emirembe.#Laba ne 2 Kor 8:23; Bag 2:3; 2 Tim 4:10
Omulimu gwa Tito mu Kureete
5Nakuleka mu Kureete, olyoke otereeze ebyo ebyetaaga okutereezebwa, era oteekewo abakulembeze b'ebibiina by'abakkiriza Kristo, mu buli kibuga, nga bwe nakulagira.
6Oyo gw'olonda, asaanye okuba nga taliiko ky'anenyezebwamu, era ng'alina omukazi omu. Abaana be bateekwa okuba nga bakkiriza, era nga tebabalirwa mu balalulalu, wadde mu batali bawulize,#Laba ne 1 Tim 3:2-7 7kubanga omulabirizi nga bw'ali omuweereza wa Katonda, ateekwa okuba nga taliiko ky'anenyezebwamu, nga teyeekulumbaza, nga tasunguwala mangu, nga tatamiira, nga si mukambwe, era nga talulunkanira byakufuna. 8Wabula ateekwa okuba ng'amanyi okwaniriza abagenyi, era ng'ayagala obulungi, nga mwegendereza, nga mwenkanya, nga mutukuvu, era ng'amanyi okwefuga. 9Ateekwa okuba omuntu anywerera ku bigambo eby'amazima, nga bwe yabiyigirizibwa, alyoke asobole okunnyonnyola abantu enjigiriza entuufu, era n'okulaga obukyamu bw'abo abagiwakanya.
10Waliwo bangi abajeemu, naddala abamu ku bakomole, aboogera ebitaliimu era abalimba. 11Abo basaanye okusirisibwa, kubanga boonoona buli maka, nga bayigiriza ebitasaana, balyoke beefunire amagoba amabi. 12Omu mu bo, era omulanzi yagamba nti:
“Ab'e Kureete bulijjo balimba;
zensolo embi,
ze mbuto engayaavu!”
13Kye yagamba kya mazima. N'olwekyo, oteekwa okubanenyanga n'amaanyi, balyoke babe n'okukkiriza okutuufu. 14Balemenga okussa omutima ku nfumo ez'obulimba ez'Ekiyudaaya, wadde ku biragiro, abantu abagaana amazima bye bagunja.
15Eri abalongoofu, ebintu byonna biba birongoofu. Naye eri abo abatali balongoofu n'abatakkiriza, tewaba kirongoofu, kubanga amagezi gaabwe n'ebirowoozo byabwe byayonooneka. 16Bagamba nti bamanyi Katonda, naye mu bikolwa byabwe bamwegaana. Bagwenyufu era bajeemu; tebasaanira mulimu mulungi na gumu.
Currently Selected:
TITO 1: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.