Skip to content

ENGERO 4

4
Kitaawe w'abaana by'abuulirira abaana be
1Abaana, muwulirize
kitammwe by'abayigiriza.
Mubisseeko omwoyo,
mulyoke mube n'okutegeera,
2kubanga bye mbawa birungi.
Temuvanga ku bye mbayigiriza.
3Bwe nali nkyali mulenzi muto,
nali muganzi
ewa kitange ne mmange.
4Era kitange yanjigirizanga
n'aŋŋamba nti:
“Jjukiranga bye ŋŋamba,
tobyerabiranga.
Kolanga bye nkulagira,
oliwangaala.
5Funa amagezi n'okutegeera.
Teweerabiranga
wadde okulagajjalira bye ŋŋamba.
6Tovanga ku magezi, ganaakukuumanga;
ogaagalanga,
ganaakubeezangawo mirembe.
7Amagezi, kye kintu
ekisinga obukulu.
Kale funanga amagezi;
era mu byobugagga bwo byonna,
beeranga n'okutegeera.
8Yagalanga amagezi,
galikufuula mukulu.
Gawambaatirenga,
galikuweesa ekitiibwa.
9Galikutikkira engule ey'ebimuli,
engule erikuweesa ekitiibwa.”
10Wulira mwana wange
era okkirize bye ŋŋamba,
lw'oliwangaala emyaka emingi.
11Nkuyigirizza eby'amagezi,
nkulaze ekkubo ettuufu.
12Tewali kineekiikanga
mu kkubo mw'otambulira,
era teweekoonenga ng'odduka.
13By'oyize tobirekanga,
bikuumenga.
Bikwatenga,
kubanga bwe bulamu bwo.
14Ekkubo ly'ababi tolikwatanga,
era toyitanga na boonoonyi.
15Ekkubo lyabwe lyesambenga.
Lyewalenga,
okwatenga liryo ogende,
16kubanga tebeebaka
nga tebamaze kukola bya ffujjo.
Otulo tebatufuna,
nga tebalina gwe basudde mu kibi.
17Bawoomerwa kukola bibi
na kwonoona,
nga bwe bawoomerwa
emmere n'omwenge.
18Naye ekkubo abalungi mwe bayita,
lyaka ng'enjuba
etandiikiriza okuvaayo,
egenda nga yeeyongera okwaka
okutuuka mu ttuntu.
19Ekkubo ly'ababi
liri nga kazigizigi wa nzikiza.
Beesittala ne bagwa,
nga tebamanyi kye beesittaaddeko.
20Mwana wange, ssaayo omwoyo
ku bigambo byange,
wuliriza bulungi bye ŋŋamba.
21Toyawukananga nabyo,
era bikuumenga mu mutima gwo,
22kubanga ababizuula, bibawa obulamu,
era biwonya
omubiri gwabwe gwonna endwadde.
23Weegenderezenga endowooza yo,
kubanga obulamu bwo,
bufugibwa ebyo by'olowooza.
24Toyogeranga bya bulimba,
weewalenga ebiwubisa abalala.
25Tunulanga n'obwesige
mu maaso gy'olaga,
tomagamaganga.
26Bulijjo malanga kweteesa,
nga tonnabaako ky'okola,
by'okola byonna lwe binaalamanga.#Laba ne Beb 12:13
27Weewale ebibi, otambulire
mu kkubo ettuufu.
Towunjawunjanga kulivaamu.