Bible App logo
Search Icon

ENGERO 3

3
Okubuulirira abavubuka
1Mwana wange,
teweerabiranga
bye nkuyigiriza,
naye okwatanga
bye nkulagira okukola,
2lw'oliwangaala emyaka emingi,
n'oba mu bulamu obw'emirembe.
3Tovanga ku mazima
ne ku bwesigwa.
Bisibenga mu bulago bwo,
biwandiikenga ku mutima gwo.
4Olwo olisiimibwa
era n'oyagalibwa
Katonda n'abantu.#Laba ne Luk 2:52
5Weesigenga Mukama
n'omutima gwo gwonna,
teweesiganga kutegeera kwo.
6Gonderanga Mukama
mu byonna by'okola,
anaakulaganga
ky'osaanye okukola.
7Teweefuulanga mugezi.
Otyanga Mukama,
n'ova mu bibi.#Laba ne Bar 12:16
8Ekyo kye kinaabanga eddagala
eriwonya ebiwundu byo,
era erikkakkanya obulumi bwo.
9Ossangamu Mukama ekitiibwa
ng'omutonera ku bibyo,
owangayo ebisinga obulungi
ku by'okungula byonna;
10amawanika go
lwe ganajjulanga
by'obazizza,
n'amasogolero go
ne gajjula omwenge omusu.
11Mwana wange,
Mukama by'akubuulirira
tobinyoomanga,
era teweetamwanga
ng'akunenyezza,#Laba ne Yob 5:17#Laba ne Beb 12:5-6
12kubanga Mukama b'ayagala
abakangavvula,
ng'omuzadde bw'akangavvula
omwana we gw'ayagala.#Laba ne Kub 3:19
13Wa mukisa oyo aba n'amagezi,
wa mukisa afuna okutegeera,
14kubanga bya muwendo
okusinga ffeeza,
bya magoba okusinga zaabu.
15Amagezi ga muwendo okusinga
amayinja ag'omuwendo.
Tewali kye weegomba,
ky'oyinza kugeraageranya ku go.
16Amagezi gakuwangaaza,
ne gakuwa obugagga n'ekitiibwa.
17Amagezi gakuwa
obulamu obweyagaza,
n'obubeeramu ng'oli mirembe.
18Abafuna amagezi,
bafuna obulamu;
abaganywereramu beesiimye.
19Mukama ensi eno
yagitondesa magezi,
n'eggulu yaliwangisa kutegeera.
20Amagezi ge,
ge gaakulukusa emigga,
ne gatonnyesa n'enkuba ku nsi.
21Mwana wange, weekwatenga
ku magezi amatuufu
n'okugoba ensonga;
tobiganyanga kukuvaako.
22Birikuwa obulamu,
ne binyiriza embeera yo.
23Olwo olitambula bulungi mu lugendo lwo,
ng'ekigere kyo tewali we kyekoona.
24Bw'onoogalamiranga okwebaka,
tootyenga.
Oneebakanga otulo
ne tukuwoomera.
25Teweeraliikirirenga
kugwibwako bubenje,
wadde okuzikirira
okujjira ababi,
26kubanga Mukama
ye anaakukuumanga
n'atakuleka kugwa mu kitimba.
27Buli lw'oba osobola,
tommanga buyambi
bantu babusaanidde.
28Togambanga muliraanwa wo nti:
“Kati genda, okomewo enkya,”
ng'osobola okumuyamba olwaleero.
29Tokolanga ntegeka
kukola munno kabi
ng'ali naawe mirembe.
30Toyombanga na muntu
awatali nsonga,
awatali kabi k'akukoze.
31Tokwatirwanga buggya
oyo anyigiriza abalala,
era tosalangawo kukola
nga ye by'akola,
32kubanga Mukama akyawa
abakola ebibi,
naye abalongoofu
b'amanyisa ekyama kye.
33Mukama akolimira
amaka g'ababi,
naye ag'abalungi agawa omukisa.
34Abeemanyi bokka abanyooma,
naye abeetoowaze
abakwatirwa ekisa.#Laba ne Yak 4:6; 1 Peet 5:5
35Abagezi balifuna ekitiibwa,
naye abasiru
balyeyongera kuswazibwa.

Currently Selected:

ENGERO 3: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in