ABAFILIPPI 4
4
Okuyigiriza
1Kale baganda bange be njagala ennyo, era be nnumirwa, mmwe ssanyu lyange, era mmwe ngule yange. Abaagalwa, munywererenga bwe mutyo mu Mukama. 2Neegayirira Ewudiya ne Suntuke basse kimu mu Mukama. 3Era nsaba ggwe mukozi munnange omwesigwa, oyambenga abakazi abo, kubanga baakolera wamu nange omulimu gw'okubunyisa Amawulire Amalungi. Abo awamu ne Kelementi, era n'abakozi bannange abalala, amannya gaabwe gawandiikiddwa mu kitabo ky'obulamu.
4Musanyukirenga mu Mukama bulijjo. Nziramu okubagamba nti musanyukenga. 5Abantu bonna bamanye nga bwe muli abakkakkamu, Mukama ali kumpi okujja. 6Temweraliikiriranga kintu na kimu, naye byonna mubitegeezenga Katonda, nga mumusaba, nga mumwegayirira era nga mumwebaza. 7Emirembe gya Katonda egisukkiridde okutegeera kwaffe, ginaakuumanga emitima gyammwe n'emyoyo gyammwe, nga biri wamu ne Yesu Kristo.
8Abooluganda eky'enkomerero, ebyo byonna eby'amazima, ebissibwamu ekitiibwa, ebituufu, ebirongoofu, ebyagalibwa, n'eby'ettendo, bye muba mulowoozangako. 9Ebyo bye nabayigiriza ne bye nabawa, ebyo bye mwawulira njogera, ne bye mwalaba nkola, era bye mubanga mukola, bye mubanga mutambuliramu, olwo Katonda ow'emirembe anaabeeranga nammwe.
Okwebaza
10Nfunye essanyu lingi mu Mukama, kubanga kaakano, nga wamaze okuyitawo ebbanga ddene, muzzeemu okunfaako. Kya mazima mwali munfaako, naye mwali temulina bbanga. 11Njogera kino si lwa kuba nti ndiko kye neetaaga, kubanga nayiga obutajulirira kantu mu buli mbeera gye mbaamu. 12Mmanyi okuba omwavu, era mmanyi okuba omugagga. Mu buli ngeri, ne mu mbeera zonna, nayiga okukkuta n'okulumwa enjala, okuba n'ebingi n'obutaba na kantu. 13Nnyinza okugumira byonna olw'amaanyi ga Kristo g'ampa.
14Kyokka mwakola bulungi okunziruukirira mu kubonaabona kwange. 15Era mmwe ab'e Filippi mumanyi nti bwe natandika okutegeeza abantu Amawulire Amalungi nga nva e Makedooniya, tewaali kibiina ky'abakkiriza Kristo na kimu ekyampaayo akantu olw'ebyo bye kyafuna, okuggyako mmwe mwekka.#Laba ne 2 Kor 11:9 16Era ne bwe nali mu Tessalonika, mwampeereza ebyokunnyamba, si mulundi gumu, wabula ebiri.#Laba ne Bik 17:1 17Ekirabo si kye njagala, naye kye njagala kwe kulaba nti bye mufuna byeyongera obungi. 18Naye kaakano mmaze okufuna ebisinga ku ebyo bye neetaaga. Nzijudde olw'okufuna bye mwampeereza, Epafuradito bye yandeetera. Ebirabo bino biri ng'akawoowo akalungi ennyo ak'ekitambiro ekisanyusa, era ekisiimibwa Katonda.#Laba ne Kuv 29:18 19Kale Katonda wange alibawa buli kye mwetaaga, ng'aggya ku bugagga bwe obungi, obuli mu Kristo Yesu. 20Katonda waffe, era Kitaffe aweebwenga ekitiibwa emirembe gyonna. Amiina.
Okulamusa okusembayo
21Mulamuse abantu ba Katonda bonna abakkiriza Kristo Yesu. Baganda baffe abali nange babalamusizza. 22Era abantu ba Katonda bonna, na ddala abo abali mu lubiri lwa Kayisaari babalamusizza. 23Mukama waffe Yesu Kristo abakwatirwenga mmwe ekisa.
Currently Selected:
ABAFILIPPI 4: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.