YouVersion Logo
Search Icon

ABAKOLOSAAYI Ennyanjula

Ennyanjula
Ebbaluwa Pawulo gye yawandiikira Abakolosaayi, Pawulo yagiwandiikira kibiina kya bakkiriza Kristo ab'e Kolosse, ekibuga mu Asiya Entono ebuvanjuba wa Efeso. Ekibiina ky'abakkiriza Kristo kino, tekyatandikibwawo Pawulo naye kyali mu kitundu kye yali awulirako obuvunaanyizibwa n'aweerezaayo abakozi ng'asinziira mu Efeso, ekibuga ekikulu eky'ettwale ly'Abarooma erya Asiya.
Pawulo yali akitegeddeko nga mu kibiina ky'abakkiriza Kristo eky'e Kolosse mwalimu abantu abayigiriza eby'obulimba, nga baggumiza nti okumanya Katonda n'okulokolebwa mu bujjuvu omuntu alina kusinza myoyo egimu egy'amaanyi n'obuyinza. Abayigiriza abo era baagamba nti omuntu ateekwa okubaako emikolo egimukolwako, okugeza okukomolebwa, era nti ateekwa okukuuma butiribiri amateeka amakakali agafa ku byokulya ne ku bintu ebirala.
Pawulo awandiika okuwakanya enjigiriza eyo, ng'awa obubaka obutuufu obufa ku Kristo. Ekinyusi ky'okuddamu abantu abo, kigamba nti Yesu Kristo asobolera ddala bulungi okulokola mu bujjuvu. Bino ebirala ebikkirizibwa n'ebikolebwa, bireetera na bantu kumuvaako. Katonda yatonda ensi ng'ayita mu Ye, Kigambo we, era ayita mu Ye okugizza gy'ali. Mu kubeera obumu ne Kristo, mwe mwokka omuli okulokolebwa kw'ensi. Olwo Pawulo n'alyoka alaga enjigiriza eno enkulu ky'ekola mu bulamu bw'abakkiriza.
Bwe wekkaanya, olaba nga Ticiko eyatwala ebbaluwa ya Pawulo eno e Kolosse, yawerekerwako Onesimo omuddu Pawulo gwe yasinziirako okuwandiikira Filemooni.
Ebiri mu bbaluwa eno mu bufunze
Ennyanjula 1:1-8
Omulimu gwa Kristo nga bwe gufaanana 1:9–2:19
Obulamu obuggya mu Kristo 2:20–4:6
Okufundikira 4:7-18

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in