YouVersion Logo
Search Icon

MATAYO 28

28
Okuzuukira kwa Yesu
(Laba ne Mak 16:1-10; Luk 24:1-12; Yow 20:1-10)
1Sabbaato bwe yali ng'eggwaako, olunaku olusooka mu wiiki nga lunaatera okukya, Mariya Magudaleena ne Mariya omulala ne bagenda okulaba entaana. 2Ne wabaawo okukankana kw'ensi okw'amaanyi, kubanga malayika wa Mukama yava mu ggulu n'ajja, n'ayiringisa ejjinja, n'aliggyawo, era n'alituulako. 3Yali afaanana ng'okumyansa, n'ekyambalo kye nga kitukula ng'omuzira. 4Abakuumi, olw'okumutya ennyo, ne bakankana, era ne baba ng'abafudde.
5Awo malayika n'agamba abakazi nti: “Mmwe temutya. Mmanyi nga munoonya Yesu, eyakomererwa ku musaalaba. 6Wano taliiwo. Azuukidde nga bwe yagamba. Mujje mulabe ekifo w'abadde agalamidde. 7Mugende mangu, mubuulire abayigirizwa be nti: ‘Azuukidde, era abakulembeddemu okugenda e Galilaaya. Eyo gye mulimulabira.’ Kaakano mbabuulidde.”
8Awo ne bafuluma, ne bava mangu ku ntaana nga batidde, naye nga bajjudde essanyu, ne badduka okubuulira abayigirizwa be.
9Awo Yesu n'abasisinkana, n'agamba nti: “Mirembe!” Ne bamusemberera, ne bakwata ku bigere bye, ne bamusinza. 10Yesu n'abagamba nti: “Muleke kutya. Mugende mubuulire baganda bange bagende e Galilaaya. Eyo gye balindabira.”
Obubaka bw'abakuumi b'entaana
11Abakazi bwe baali bagenda, abamu ku baserikale abaakuuma entaana, ne bajja mu kibuga, ne bategeeza bakabona abakulu byonna ebibaddewo. 12Bakabona abakulu ne bakuŋŋaana wamu n'abantu abakulu mu ggwanga, ne bateesa. Ne bawa abaserikale ensimbi nnyingi, 13ne bagamba nti: “Mugambe nti: ‘Abayigirizwa be bazze ekiro nga twebase, ne babba omulambo gwe.’ 14Ekyo omufuzi bw'alikiwulira, ffe tulimuwooyawooya, ne tubawonya omusango.”
15Abakuumi ne batwala ensimbi, ne bakola nga bwe baabagamba. Ekigambo ekyo ne kibuna mu Buyudaaya n'okutuusa kati.
Yesu alabikira abayigirizwa be
(Laba ne Mak 16:14-18; Luk 24:36-49; Yow 20:19-23; Bik 1:6-8)
16Awo abayigirizwa ekkumi n'omu ne balaga e Galilaaya, ku lusozi Yesu gye yabalagira okugenda.#Laba ne Mat 26:32; Mak 14:28 17Bwe baamulaba, ne bamusinza. Naye abamu ku bo ne babuusabuusa.
18Yesu n'abasemberera, n'ayogera nabo, n'agamba nti: “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi. 19Kale mugende, abantu b'amawanga gonna mubafuule abayigirizwa bange, nga mubabatiza mu linnya lya Kitaffe, ne lya Mwana, ne lya Mwoyo Mutuukirivu,#Laba ne Bik 1:8 20nga mubayigiriza okukwata byonna bye nabalagira mmwe. Nange ndi wamu nammwe okutuusa ensi lw'eriggwaawo.”

Currently Selected:

MATAYO 28: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in