Bakabona abakulu ne bakuŋŋaana wamu n'abantu abakulu mu ggwanga, ne bateesa. Ne bawa abaserikale ensimbi nnyingi, ne bagamba nti: “Mugambe nti: ‘Abayigirizwa be bazze ekiro nga twebase, ne babba omulambo gwe.’ Ekyo omufuzi bw'alikiwulira, ffe tulimuwooyawooya, ne tubawonya omusango.”
Abakuumi ne batwala ensimbi, ne bakola nga bwe baabagamba. Ekigambo ekyo ne kibuna mu Buyudaaya n'okutuusa kati.