Bible App logo
Search Icon

YAKOBO 5

5
Okulabula abagagga
1Kaakano ate mmwe abagagga, mukaabe era mulire olw'obuyinike obujja okubajjira. 2Obugagga bwammwe buvunze, n'ebyambalo byammwe biriiriddwa ennyenje.#Laba ne Mat 6:19 3Zaabu wammwe ne ffeeza bitalazze, era obutalagge obwo bwe bulibalumiriza, ne bulya emibiri gyammwe, ng'omuliro bwe gulya. Mukuŋŋaanyizza obugagga, ng'enkomerero y'ensi eri kumpi okutuuka.
4Empeera y'abakozi abaakola mu nnimiro zammwe, gye mwalyazaamaanya, yiino ereekaana, era omulanga gw'abo abaakola, gutuuse mu matu ga Mukama Omuyinzawaabyonna.#Laba ne Ma 24:14-15 5Mwesanyusizza ku nsi, ne muwoomerwa ebinyumu. Mugejjedde olunaku olw'okuttibwa. 6Mwasala omusango okusinga oyo atagulina, ne mumutta nga tabalwanyisa.
Okugumiikiriza
7Kale nno baganda bange, mugumiikirizenga okutuusa Mukama lw'alijja. N'omulimi bw'atyo bw'akola: alindirira ennimiro ye okumubalira ebibala eby'omugaso, ng'agumiikiriza okutuusa lw'alifuna enkuba esooka era n'eyo ejja oluvannyuma. 8Nammwe mugumiikirizenga, mugume emitima, kubanga Mukama ali kumpi okujja.
9Baganda bange, temwemulugunyizagananga, muleme okusalirwa omusango. Omulamuzi ali awo kumpi. 10Baganda bange, mulabire ku balanzi abaayogeranga mu linnya lya Mukama, abaabonaabona, ne bagumiikiriza. 11Abo abaagumiikiriza, tubayita ba mukisa. Mwawulira Yobu bwe yagumiikiriza, era mumanyi Mukama kye yamukolera oluvannyuma, kubanga Mukama wa kisa era musaasizi.#Laba ne Yob 1:21-22; 2:10; Zab 103:8
12Naye baganda bange, okusingira ddala, temulayiranga newaakubadde eggulu oba ensi, wadde ekintu ekirala kyonna, naye mugambenga nti: “Weewaawo”, nga mutegeeza nti weewaawo; oba nti “Nedda”, nga mutegeeza nti nedda, muleme kuzza musango.#Laba ne Mat 5:34-37
13Waliwo mu mmwe ali mu buyinike? Kale yeegayirire Katonda. Waliwo asanyuka? Kale ayimbe eby'okutendereza Katonda.
14Mu mmwe waliwo alwadde? Kale ayite abakulu b'ekibiina ky'abakkiriza Kristo, bamusabire nga bwe bamusiiga n'omuzigo mu linnya lya Mukama.#Laba ne Mak 6:13 15Okusaba okwo okujjudde okukkiriza, kuliwonya omulwadde oyo, Mukama n'amussuusa; era oba nga yakola ebibi, birimusonyiyibwa.
16Kale nno mwatuliraganenga ebibi byammwe era musabiraganenga, mulyoke muwone. Okusaba kw'omutuukirivu kwa maanyi era kukola. 17Eliya yali muntu nga ffe. Yasaba nnyo Katonda, enkuba ereme kutonnya ku nsi, era n'etetonnya okumala emyaka esatu n'emyezi mukaaga.#Laba ne 1 Bassek 17:1; 18:1 18N'asaba nate, eggulu ne litonnyesa enkuba, ettaka ne lyeza ebibala.#Laba ne 1 Bassek 18:42-45
Okukomyawo aboonoonyi
19Baganda bange, omu ku mmwe bw'awabanga n'ava ku mazima, omulala n'amukomyawo, 20amanye nti oyo akomyawo omwonoonyi n'amuggya gy'awabidde, aliwonya omwoyo gwe okufa, era alisonyiyisa ebibi bingi.#Laba ne Nge 10:12; 1 Peet 4:8

Currently Selected:

YAKOBO 5: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in