Bible App logo
Search Icon

1 PEETERO Ennyanjula

Ennyanjula
Ebbaluwa ya Peetero Embereberye, yawandiikirwa abagoberezi ba Kristo abayitibwa mu yo “Abalondemu ba Katonda” ab'e Ponto, Galatiya, Kapadookiya, Asiya ne Bitiniya, be b'omu kitundu eky'ebukiikakkono ekya Asiya Entono.
Ekikulu ebbaluwa eno ky'egenderera, kwe kugumya b'ewandiikirwa abaali bayigganyizibwa era nga babonaabona olw'okukkiriza kwabwe. Omuwandiisi abagumya ng'abajjukiza Amawulire Amalungi agafa ku Yesu Kristo. Abagamba nti okufa n'okuzuukira kwa Kristo oyo era n'okudda kwe nga bwe yatusuubiza, bibazzeemu essuubi. N'olwekyo abakubiriza bakkirize era bagumire okubonaabona, nga bakakasa ng'ekyo kye kigeza okukkiriza kwabwe kulabike nti ddala kwa mazima, era bakakase nga baliweerwa empeera ku lunaku Yesu lw'alyeyolekerako.
Mu kubagumya mu bizibu, omuwandiisi akubiriza b'awandiikira okuluŋŋamya obulamu bwabwe nga bwe kisaanira abagoberezi ba Kristo.
Ebiri mu bbaluwa eno mu bufunze
Ennyanjula 1:1-2
Okujjukiza nga Katonda bw'alokola 1:3-12
Okukubiriza abasomi babe batukuvu 1:13–2:10
Obuvunaanyizibwa bw'abakkiriza nga bali mu kubonaabona 2:11–4:19
Obwetoowaze n'obuweereza bw'Abakristo 5:1-11
Okufundikira 5:12-14

Currently Selected:

1 PEETERO Ennyanjula: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in