Bible App logo
Search Icon

ABEEBUREEYI 9

9
Okusinza
1Era n'endagaano eyasooka yalina amateeka agaagobererwanga mu kusinza Katonda, era yalina n'ekifo ekitukuvu eky'oku nsi. 2Waateekebwawo ne weema omwali ekikondo ky'ettaala, emmeeza, n'emigaati egiweebwayo eri Katonda. Ekitundu ekyo nga kiyitibwa Ekifo Ekitukuvu.#Laba ne Kuv 26:1-30; 25:23-40
3Emabega w'olutimbe olwokubiri, we waali Eweema eyitibwa Entukuvu Ennyo.#Laba ne Kuv 26:31-33 4Mu yo mwalimu ekyoterezo ky'obubaane, ekyakolebwa mu zaabu. Era mwalimu essanduuko ey'endagaano, ebikkiddwako zaabu enjuyi zonna. Mu ssanduuko eyo, mwalimu ekibya ekya zaabu, omwali mannu. Era mwalimu omuggo gwa Arooni ogwaloka, n'ebipande eby'amayinja okuwandiikiddwa ebiragiro bya Katonda.#Laba ne Kuv 16:33; 25:10-16; 30:1-6; Kubal 17:8-10; Ma 10:3-5 5Kungulu ku yo kwaliko bakerubi abeekitiibwa, abasiikirizza entebe ya Katonda nnannyini kusaasira. Ebyo byonna tetuyinza kubyogerako kaakano kinnakimu.#Laba ne Kuv 25:18-22
6Ebyo byonna nga bimaze okutereezebwa bwe bityo, bakabona baayingiranga bulijjo mu weema esookerwako, ne batuukiriza omulimu gwabwe.#Laba ne Kubal 18:2-6 7Naye mu weema eyookubiri, mwayingirwangamu Ssaabakabona yekka, ng'ayingiramu omulundi gumu buli mwaka, era ng'ateekwa okutwalayo omusaayi gw'awaayo ku lulwe, ne ku lw'ebyonoono by'abantu bye bakola mu butamanya.#Laba ne Leev 16:2-34
8Mu bino byonna Mwoyo Mutuukirivu alaga nti ekkubo erituuka mu Kifo Ekitukuvu Ennyo lyali terinnamanyika, ng'eweema esookerwako ekyayimiriddewo. 9Ekyo kyali kifaananyi bufaananyi eky'ebyo ebiriwo kati. Ebirabo n'ebitambiro ebyo ebyaweebwangayo, tebyayinzanga kutukuza mwoyo gw'oyo abiwaayo. 10Byakomanga ku bya kungulu, ebifa ku kulya ne ku kunywa ne ku bulombolombo obw'okwetukuza, ebyali eby'okubeerawo okutuusa ku kiseera eky'okuzza ebintu byonna obuggya.
11Naye Kristo bwe yajja nga ye Ssaabakabona w'ebirungi ebigenda okujja, yayita mu weema esinga obukulu n'okutuukirira, etaakolebwa bantu, kwe kugamba, eteri ya ku nsi kuno, 12n'ayingirira ddala omulundi gumu mu Kifo Ekitukuvu, ng'amaze okutufunira okununulibwa okutaggwaawo. Teyayingirayo na musaayi gwa mbuzi na gwa nnyana, wabula yayingirayo na musaayi gwe gwennyini.
13Omusaayi gw'embuzi n'ogw'ente ennume, n'evvu ly'ente enduusi, ebimansirwa ku abo abatali balongoofu, bibatukuza ne baba balongoofu mu byokungulu.#Laba ne Leev 16:15-16; Kubal 19:9,17-19 14Kristo ataliiko kamogo yeewaayo eri Katonda, mu maanyi ga Mwoyo ataggwaawo. Kale omusaayi gwe tegulisingawo nnyo okunaaza emyoyo gyaffe, ne tuweereza Katonda Nnannyinibulamu?
15N'olwekyo Kristo ye mutabaganya mu ndagaano empya, kubanga abo abaasuubizibwa ebirungi ebitaggwaawo, abasobozesa okubifuna. Ekyo kisoboka, kubanga yafa n'anunula abantu mu bibi byabwe bye baakola nga bakyafugibwa endagaano eyasooka.
16Ekiraamo kikakata ng'eyakiraama amaze kufa. 17Ekiraamo tekikola ng'eyakiraama akyali mulamu, wabula amala kufa, ne kiryoka kikola. 18N'endagaano eyasooka kyeyava ekakasibwa n'omusaayi. 19Musa bwe yamala okutegeeza abantu ebiragiro byonna ebiri mu Mateeka, n'addira omusaayi gw'ennyana n'ogw'embuzi, wamu n'amazzi, n'ebyoya by'endiga ebimyufu, n'akati akayitibwa “Yisopu,” n'amansira ku kitabo ky'Amateeka ne ku bantu bonna,#Laba ne Kuv 24:6-8 20nga bw'agamba nti: “Guno gwe musaayi ogukakasa endagaano Katonda gy'abalagidde okutuukiriza.” 21Era mu ngeri ye emu, Musa n'amansira omusaayi ku weema ne ku bintu byonna ebikozesebwa mu kusinza.#Laba ne Leev 8:15
22Era mu Mateeka, kumpi buli kintu kitukuzibwa na musaayi, era awatali kuyiwa musaayi, tewabaawo kusonyiyibwa bibi.#Laba ne Leev 17:11
Ekitambiro kya Kristo kiggyawo ebibi
23Ebifaananyi by'ebyo eby'omu ggulu byasaanira okutukuzibwa bwe bityo. Naye eby'omu ggulu byennyini, byetaaga okutukuzibwa n'ebitambiro ebisinga obulungi. 24Kristo teyayingira mu Kifo Ekitukuvu ekyakolebwa abantu, nga kifaanana bufaananyi nga kiri kyennyini, wabula yayingira mu ggulu lyennyini, gy'ali kaakano, mu maaso ga Katonda ku lwaffe.
25Kristo teyayingira kwewaayo mirundi mingi, nga Ssaabakabona bw'ayingira buli mwaka mu Kifo Ekitukuvu okuwaayo omusaayi ogutali gugwe. 26Olwo Kristo yandibadde ateekwa okubonaabona emirundi mingi okuviira ddala ensi lwe yatondebwa. Naye kaakano yalabika omulundi gumu, mu mirembe gino egikomererayo, alyoke aggyewo ekibi, olw'okwewaayo yennyini. 27Era nga buli muntu bw'afa omulundi ogumu, era bw'amala okufa, n'asalirwa omusango, 28era ne Kristo bw'atyo. Yaweebwayo omulundi gumu okwetikka ebibi by'abangi. Alijja omulundi ogwokubiri, nga tazze kuddamu kulwanyisa kibi, wabula okuyimbula abo abamulindirira.#Laba ne Yis 53:12

Currently Selected:

ABEEBUREEYI 9: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in