ABEEBUREEYI 8
8
Yesu Ssaabakabona waffe
1Ekigambo ekikulu mu bye twogedde kye kino: Ssaabakabona gwe tulina bw'atyo bwe yenkana, era atudde ku ludda olwa ddyo olw'entebe ey'obwakabaka eya Nnannyinibuyinza mu ggulu.#Laba ne Zab 110:1 2Aweereza nga Ssaabakabona mu Kifo Ekitukuvu era mu Weema yennyini etaateekebwawo muntu, wabula Mukama.
3Buli ssaabakabona ateekebwawo okuwaayo ebirabo n'ebitambiro eri Katonda. Ne Ssaabakabona waffe kyava agwanira okubaako ne ky'awaayo. 4Kale singa yali ku nsi, teyandibadde kabona n'akatono, kubanga waliwo bakabona abawaayo ebirabo ng'Amateeka bwe galagira. 5Kye bakola kifaananako bufaananyi, era kisiikirize eky'ebyo ebikolebwa mu ggulu. Ne ku Musa bwe kyali. Bwe yali ng'agenda okukola eweema, Katonda yamulagira nti: “Byonna bikole ng'ogoberera ekyakulagibwa ku lusozi.”#Laba ne Kuv 25:40 6Naye kaakano omulimu Yesu gwe yaweebwa, gusinga nnyo ogwa bali obukulu, kubanga n'endagaano gy'alimu ng'omutabaganya, ye esinga obulungi, n'ebisuubizo kw'enyweredde, bye bisinga obulungi.
7Singa endagaano eyasooka teyaliiko ky'enenyezebwamu, tewandibaddewo kyetaagisa yaakubiri. 8Naye Katonda ayogera ng'anenya abantu be nti:
“Mukama agamba nti:
Ekiseera kirituuka,
ne nkola endagaano empya
n'abantu ba Yisirayeli,
era n'ekika kya Yuda.#Laba ne Yer 31:31-34
9Teriba ng'endagaano
gye nakola ne bajjajjaabwe,
ku lunaku lwe nabakwata ku mukono
okubaggya mu nsi y'e Misiri,
kubanga tebaanywerera
ku ndagaano eyo.
Nange kyennava ndekayo okubawuliriza.
Bw'atyo Mukama bw'ayogera.
10Eno ye ndagaano
gye ndikola n'Abayisirayeli
ennaku ezo bwe zirituuka,
bw'atyo Mukama bw'ayogera.
Nditeeka amateeka gange
mu magezi gaabwe.
Era ndigawandiika
mu mitima gyabwe.
Ndiba Katonda waabwe,
nabo ne baba bantu bange.
11Tewaliba ayigiriza munne,
wadde ayigiriza muganda we nti:
‘Manya Mukama.’
Okuviira ddala ku muto
okutuuka ku mukulu,
bonna balimmanya.
12Ndibasonyiwa okwonoona kwabwe,
n'ebibi byabwe siribijjukira nate.”
13Katonda bw'ayogera ku ndagaano empya, aba akaddiyizza eyo eyasooka. Naye ekyo ekikula ne kikaddiwa, kiba kiri kumpi okuggwaawo.
Currently Selected:
ABEEBUREEYI 8: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.