Bible App logo
Search Icon

ABEEBUREEYI 7

7
Obwakabona bwa Melikizeddeki
1Melikizeddeki oyo yali kabaka w'e Saalemu era kabona wa Katonda Atenkanika. Aburahamu bwe yali ng'ava mu lutalo mwe yattira bakabaka, Melikizeddeki n'amusisinkana, era n'amuwa omukisa.#Laba ne Nta 14:17-20 2Aburahamu n'awa Melikizeddeki oyo ekitundu ekimu eky'ekkumi ekya byonna bye yanyaga.
Okusooka erinnya Melikizeddeki litegeeza “Kabaka ow'emirembe.” 3Ebimwogerako tebyogera ku kitaawe wadde nnyina, wadde bajjajjaabe. Era tebyogera na ku lunaku lwe yazaalirwako, wadde lwe yafiirako. Afaanaanyirizibwa n'Omwana wa Katonda, aba Kabona ow'olubeerera.
4Kale mulabe ng'omuntu oyo bwe yali omukulu! Aburahamu jjajjaffe omukulu yamuwa ekitundu ekimu eky'ekkumi eky'ebyo bye yanyaga. 5Bazzukulu ba Leevi abaaweebwa obwakabona, Amateeka gabalagira okusolooza ku bantu ekitundu ekimu eky'ekkumi, newaakubadde ng'abantu abo baganda baabwe, kwe kugamba nabo bazzukulu ba Aburahamu.#Laba ne Kubal 18:21
6Melikizeddeki si muzzukulu wa Leevi, kyokka yaggya ku Aburahamu ekitundu ekimu eky'ekkumi, era n'amuwa omukisa, sso nga Aburahamu ye yasuubizibwa. 7Tewali kubuusabuusa, omukulu ye awa omuto omukisa.
8Bwe twogera ku bakabona, ekitundu ekimu eky'ekkumi kifunibwa abantu abafa. Naye ku Melikizeddeki, kifunibwa oyo akakasibwa Ebyawandiikibwa nti mulamu. 9Oyinza okugamba nti Leevi yennyini aweebwa ekitundu ekimu eky'ekkumi, naye yakiweerayo mu Aburahamu, 10kubanga yali ng'akyali mu ntumbwe za jjajjaawe Aburahamu, Melikizeddeki bwe yamusisinkana.
11Amateeka gaaweebwa abantu ba Yisirayeli nga geesigamye ku bwakabona bwa Baleevi. Kale singa omulimu gwa bakabona Abaleevi gwali gutuukiridde, tewandyetaagiddwawo kabona mulala okujja, nga wa lubu lwa Melikizeddeki, olutali lwa Arooni. 12Obwakabona bwe bukyusibwa, era n'amateeka tegalema kukyusibwa.
13Mukama waffe ayogerwako ebigambo ebyo, wa mu kika kirala omutavanga muntu n'omu kuweereza nga kabona. 14Kimanyiddwa nti yava mu kika kya Yuda, Musa ky'atayogerangako nti kirivaamu bakabona.
15Ebyo byeyongera okutegeerekeka, bwe wasitukawo kabona omulala ali nga Melikizeddeki, 16ataalondebwa kusinziira ku mateeka n'ebiragiro ebifuga abantu, wabula ku buyinza bw'obulamu obutakoma. 17Oyo ayogerwako nti:
“Oli kabona emirembe gyonna,
mu lubu lwa Melikizeddeki.”#Laba ne Zab 110:4
18Ekiragiro ekyasooka, kyadibizibwa olw'obunafu n'obutagasa bwakyo, 19kubanga Amateeka tegaliiko kye gaatuukiriza. Kaakano kyewaava waleetebwawo essuubi erisingawo, erituleetera okusemberera Katonda. 20Era kino tekyakolebwa watali kirayiro. Bo Abaleevi baafuulibwa bakabona nga tewali kirayiro. 21Naye Yesu yafuulibwa kabona nga waliwo ekirayiro, Katonda bwe yamugamba nti:
“Mukama yalayira, era talyejjusa:
Oli kabona emirembe gyonna.”#Laba ne Zab 110:4
22Yesu kyeyava afuuka omuyima w'endagaano esinga obulungi.
23Bakabona bali baali bangi, kubanga baafanga, ne batasobola kusigalawo bbanga lyonna. 24Naye Yesu nga bw'ali omulamu emirembe gyonna, obwakabona bwe bwa lubeerera. 25Kyava ayinza bulijjo okulokola abo abajja eri Katonda nga bayita mu ye, kubanga abeera mulamu ennaku zonna, okubawolerezanga.
26N'olwekyo Ssaabakabona ng'oyo omutuukirivu, ataliiko kisobyo, ataliiko bbala, atabalirwa mu babi, era eyagulumizibwa okukira eggulu, ye yatusaanira. 27Tali nga bassaabakabona abalala. Teyeetaaga kuwaayo buli lunaku bitambiro: okusooka olw'ebibi bye, n'oluvannyuma olw'ebibi by'abalala. Yawaayo ekitambiro omulundi gumu, bwe yeewaayo ye yennyini.#Laba ne Leev 9:7
28Amateeka be galonda okuba bassaabakabona, bantu buntu abalina obunafu. Naye ekigambo ky'ekirayiro kya Katonda ekyaddirira Amateeka, kyalonda Mwana omutuukirivu emirembe gyonna.

Currently Selected:

ABEEBUREEYI 7: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in