Kuba newaakubadde nga kaakano mwandibadde muli bayigiriza, naye era mukyetaaga ow'okubayigiriza ebisookerwako mu kuyiga ekigambo kya Katonda. Era mukyasaanira mata, sso si mmere nkalubo. Buli akyasaanira amata, aba akyali mwana muto, atayawula kituufu na kikyamu.