ABAGALATIYA Ennyanjula
Ennyanjula
Amawulire Amalungi agafa ku Yesu Kristo bwe gaagenda geeyongera okubuulirwa n'okwanirizibwa abatali Beebureeyi, abantu ne batandika okwebuuza oba nga ddala omuntu ateekwa kugoberera Mateeka ga Musa okusobola okuba omugoberezi omutuufu owa Kristo. Pawulo ekyo yali akizzeemu nti tekyetaagisa, wabula ng'okuba n'obulamu mu Kristo, ekyetaagisa kwe kukkiriza, kubanga okwo kwe kuleetera omuntu okutabagana ne Katonda, oba okuba omutuukirivu. Naye mu kibiina ky'abakkiriza Kristo eky'e Galatiya ettwale ly'Abarooma mu Asiya Entono, mwavaamu abantu abamu ne bawakanya Pawulo, nga bagamba nti omuntu era ateekwa buteekwa okukwata Amateeka g'Ekiyudaaya, lw'asobola okutabagana ne Katonda.
Ebbaluwa Pawulo gye yawandiikira Abagalatiya, yali ya kukomyawo mu kukkiriza ne mu nkola ennuŋŋamu abo abaali bakyamiziddwa enjigiriza y'abantu abo enkyamu. Pawulo asooka kwerwanako ng'akakasa nti ye, ddala mutume omutuufu owa Yesu. Alumiriza nti ye Pawulo, Katonda yennyini ye yamuyita okuba omutume, era nti obuyinza bwe obw'okuyigiriza teyabuggya mu bantu, era nti yatumibwa kuyigiriza abo abatali Beebureeyi. Olwo n'alyoka asimba ensonga nti okukkiriza, kwe kwokka okuleetera abantu okutabagana ne Katonda, sso si kukwata Mateeka (3:10-14). Mu mitwe egisembayo, Pawulo amaliriza ng'alaga nti empisa z'omugoberezi wa Kristo zisibuka mu kwagalana okuba ng'ebibala ebiva mu kukkiriza Kristo.
Ebiri mu bbaluwa eno mu bufunze
Ennyanjula 1:1-10
Obuyinza bwa Pawulo obw'Obutume 1:11–2:21
Amawulire Amalungi ag'okusaasira kwa Katonda 3:1–4:31
Eddembe n'obuvunaanyizibwa bw'omugoberezi wa Kristo 5:1–6:10
Okufundikira 6:11-18
Currently Selected:
ABAGALATIYA Ennyanjula: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.