YouVersion Logo
Search Icon

2 ABAKORINTO 13

13
Okusiibula era n'okulabula
1Guno gwe mulundi ogwokusatu gwe njija gye muli. Buli kigambo kirikakasibwa nga waliwo abajulirwa babiri oba basatu.#Laba ne Ma 17:6; 19:15 2Bwe nali nammwe ku mulundi ogwokubiri nalabula abo abaayonoona edda, era nalabula n'abalala bonna. Ne kaakano, newaakubadde nga siri nammwe, nziramu okubalabula nti bwe ndijja, siribaako gwe nsaasira. 3Bulijjo mmwe mwagala ekikakasa nti Kristo ayogerera mu nze. Kristo oyo tabafuza bunafu, wabula aba wa maanyi mu nze. 4Kubanga newaakubadde yakomererwa ku musaalaba nga munafu, kyokka mulamu olw'amaanyi ga Katonda. Naffe mu ye tuba banafu. Kyokka mu kukolagana nammwe, tujjanga kuba naye mu maanyi ga Katonda.
5Mwekebere era mwegeze mulabe oba nga mukyanyweredde mu kukkiriza. Temumanyi nti Kristo ali mu mmwe? Mpozzi ng'ekigezo ekyo kibalemye! 6Nsuubira nti mujja kumanya nti ffe tetulemeddwa. 7Naye tusaba Katonda, muleme kukola kibi, si lwa kwagala kulabika nti twakola bulungi, wabula mmwe mukole ekituufu, ffe ne bwe tunaalabika ng'abalemeddwa. 8Tetuyinza kukola kintu na kimu ekiwakanya amazima, wabula okugalwanirira. 9Tusanyuka ffe bwe tuba abanafu, naye mmwe ne muba ab'amaanyi. Era kye tubasabira mmwe eri Katonda, kwe kutuukirira. 10Bino mbibawandiikidde nga sinnajja gye muli, bwe ndijja nneme okuba omukambwe mu kukozesa obuyinza Mukama bwe yampa okubazimba, sso si okubazikiriza.
11Kale kaakano abooluganda, mweraba. Mufube okuba abatuukiridde, mugumyaŋŋanenga, mulowoozenga bumu, mube n'emirembe, ne Katonda nnannyini kwagala n'emirembe, anaabanga nammwe.
12Mulamusagane mu ngeri eraga nti mwagalana. 13Abantu ba Katonda bonna babalamusizza.
14Ekisa Mukama waffe Yesu Kristo ky'atukwatirwa, n'okwagala kwa Katonda kw'atwagalamu, n'okussa ekimu Mwoyo Mutuukirivu kw'atuwa, bibeerenga nammwe mwenna.

Currently Selected:

2 ABAKORINTO 13: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in