ABAGALATIYA 1
1
1Nze Pawulo omutume, obutume bwange tebwava mu bantu, wadde okuyita ku muntu n'omu, wabula bwava eri Yesu Kristo, ne Katonda Kitaffe, eyazuukiza Yesu oyo. 2Nze n'abooluganda bonna be ndi nabo, tuwandiikira ab'ebibiina by'abakkiriza Kristo ebiri e Galatiya. 3Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo babakwatirwe ekisa, era babawe emirembe.
4Kristo oyo yeewaayo olw'ebibi byaffe, alyoke atununule mu mulembe guno omubi, nga Katonda waffe era Kitaffe bwe yayagala. 5Katonda oyo aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.
Amawulire Amalungi
6Mbeewuunya mmwe! Mu kaseera kano akatono, muvudde ku oyo eyabayita olw'ekisa kya Kristo, ne muwuliriza Amawulire Amalungi amalala. 7Mu butuufu, tewali Mawulire Malungi malala, wabula waliwo abantu abamu ababatawaanya, nga bagezaako okukyamya Amawulire Amalungi aga Kristo. 8Kyokka ne bwe tuba ffe, oba malayika avudde mu ggulu, n'abategeeza Amawulire Amalungi amaawufu ku ago ge twabategeeza, avumirirwe. 9Nga bwe twayogera okusooka, era ne kaakano nkiddamu nti: bwe wabangawo abategeeza Amawulire Amalungi amaawufu ku ago ge twabategeeza, avumirirwe.
10Kale kaakano nkolerera kusiimibwa bantu, oba Katonda? Oba ngezaako kusanyusa bantu? Singa mbadde nkyanoonya kusanyusa bantu, sandibadde muweereza wa Kristo.
Pawulo nga bwe yafuuka omutume
11Abooluganda, mbategeeza nti Amawulire Amalungi ge nabategeeza si ga bantu buntu. 12Saagafuna kuva ku muntu, era tewali n'omu yaganjigiriza, wabula Yesu yennyini ye yagammanyisa.
13Mwawulira nga bwe nabeeranga, nga nkyagoberera eddiini y'Ekiyudaaya, era mwawulira nga bwe nayigganyanga ennyo ekibiina ky'abakkiririza Katonda mu Kristo, nga ngezaako okukizikiriza.#Laba ne Bik 8:3; 22:4-5; 26:9-11 14Era nasinga nnyo Bayudaaya bannange bwe twakula, ne mbasukkirira mu kujjumbira obulombolombo bwa bajjajjaffe.#Laba ne Bik 22:3
15Naye Katonda yanjawula nga sinnava na mu lubuto lwa mmange, n'ampita olw'ekisa kye.#Laba ne Bik 9:3-6; 22:6-10; 26:13-18 16Era bwe yasiima okummanyisa Omwana we, ndyoke mmutegeeze ab'amawanga amalala, sirina gwe neebuuzaako, 17wadde okwambuka e Yerusaalemu eri abo abansooka okuba abatume, wabula nagenda mu Buwarabu, oluvannyuma ne nkomawo e Damasiko. 18Ate bwe waayitawo emyaka esatu, ne nnyambuka e Yerusaalemu okulaba Keefa, ne mmala naye ennaku kkumi na ttaano.#Laba ne Bik 9:26-30 19Kyokka ssaalaba mulala ku batume, okuggyako Yakobo muganda wa Mukama waffe. 20Ndayira mu maaso ga Katonda nti bye mpandiika bya mazima, sirimba.
21Oluvannyuma nagenda mu bitundu by'e Siriya ne Kilikiya. 22Era nali sinnamanyibwa ba bibiina by'abakkiriza Kristo, ab'omu Buyudaaya, 23wabula baawuliranga buwulizi, nti oyo eyatuyigganyanga edda, kaakano ategeeza abantu bakkirize ekyo kye yagezangako okuzikiriza. 24Era ne bagulumiza Katonda ku lwange.
Currently Selected:
ABAGALATIYA 1: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.