ABAGALATIYA 2
2
Pawulo n'abatume abalala
1Oluvannyuma nga wayiseewo emyaka kkumi n'ena, nayambuka nate e Yerusaalemu, wamu ne Barunaba, nga ntutte ne Tito.#Laba ne Bik 11:30; 15:2 2Nagendayo kubanga Katonda yandaga nti nteekwa okugendayo. Ne ntuula n'abatume mu kyama, ne mbanjulira Amawulire Amalungi ge ntegeeza ab'amawanga amalala. Ekyo nakikola, sikulwa ng'omulimu gwe nali nkoze ne gwe nali ŋŋenda okukola, guba ogw'obwereere. 3Tito gwe nali naye, newaakubadde nga yali Muyonaani, teyawalirizibwa kukomolebwa. 4Waaliwo abooluganda ab'obulimba abaasensera mu kyama okuketta eddembe lyaffe lye tulina mu Kristo Yesu, nga baagala okutuzza mu buddu. 5Abo tetwabagonderako n'akatono. Twayagala tulwanirire amazima g'Amawulire Amalungi ku lwammwe.
6Abo abaabalibwanga ng'abakulembeze oba ddala bwe bali– ekyo ku nze si nsonga kubanga Katonda tasosola mu bantu– abakulembeze abo, tebalina kye bannyongerako.#Laba ne Ma 10:17 7Naye baalaba nga nakwasibwa omulimu ogw'okutegeeza ab'amawanga amalala Amawulire Amalungi, nga Peetero bwe yakwasibwa ogw'okugategeeza Abayudaaya. 8Katonda eyafuula Peetero okuba omutume w'Abayudaaya, era ye yafuula nange okuba omutume w'ab'amawanga amalala. 9Era Yakobo, Keefa ne Yowanne abaalowoozebwanga okuba empagi, bwe baategeera omulimu gwe yampa, ne batukwata mu ngalo, nze ne Barunaba, okulaga nti tuli bumu nabo. Ne tukkaanya: bo bagende eri Abayudaaya, ffe tugende eri ab'amawanga amalala. 10Wabula baatusaba tujjukirenga abantu baabwe abaavu, era ekyo nanyiikira nnyo okukikola.
Pawulo anenya Keefa
11Keefa bwe yajja mu Antiyookiya, namunenya lwatu kubanga yali mukyamu. 12Abantu abamu abaava eri Yakobo, bwe baali tebannajja, Keefa yalyanga wamu n'ab'amawanga amalala. Kyokka abantu abo bwe baatuuka, ne yeeyawula ku bali, n'abaawukanako olw'okutya abo abawagira okukomolebwa. 13N'Abayudaaya abalala be yali nabo ne beegatta naye, mu bukuusa bwe. 14Naye bwe nalaba nga tebagoberedde Mawulire Amalungi mu mazima, ne ŋŋamba Keefa nga tuli mu maaso gaabwe bonna, nti: “Ggwe oli Muyudaaya, naye okwata empisa z'ab'amawanga amalala ezitali za Kiyudaaya. Kale oyinza otya okuwaliriza ab'amawanga amalala okukwata empisa z'Ekiyudaaya?”
Abayudaaya n'abatali Bayudaaya baweebwa obutuukirivu lwa kukkiriza
15Ffe twazaalibwa nga tuli Bayudaaya, nga tetuli “Ba mawanga malala aboonoonyi,” nga bo bwe bayitibwa. 16Naye tumanyi nti omuntu aba omutuukirivu lwa kukkiriza Yesu Kristo, sso si lwa kutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira. Naffe twakkiriza Yesu Kristo tulyoke tube abatuukirivu olw'okukkiriza Kristo, naye si lwa kutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, kubanga tewali n'omu ayinza kufuuka mutuukirivu olw'okutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira.#Laba ne Zab 143:2; Bar 3:20,22 17Kale kaakano bwe tufuba okuba abatuukirivu mu Kristo, ate ne tusangibwa nga naffe tuli boonoonyi, ekyo kitegeeza nti Kristo muweereza wa kibi? Nedda, tekisoboka. 18Bwe nziramu okuzimba bye namenya, nneeraga nze nzennyini nga ndi mwonoonyi, 19kubanga mu Mateeka, nafa, nga nzitibwa Amateeka, ndyoke mbe mulamu ku bwa Katonda. Nakomererwa ku musaalaba wamu ne Kristo. 20Kyokka ndi mulamu, si ku bwange, wabula Kristo ye mulamu mu nze. Era obulamu bwe nnina kaakano, mbulina olw'okukkiriza Omwana wa Katonda, eyanjagala, ne yeewaayo ku lwange. 21Sigaana kisa kya Katonda. Naye singa abantu baba batuukirivu lwa kutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, olwo Kristo aba yafiira bwereere.
Currently Selected:
ABAGALATIYA 2: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.