ABEEFESO Ennyanjula
Ennyanjula
Ebbaluwa Pawulo gye yawandiikira Abeefeso, eyogera okusookera ddala ku “Ntegeka ya Katonda” ey'okutabaganya ebitonde byonna ebiri mu ggulu n'ebiri mu nsi, nga Kristo gwe mutwe (1:10). Era esaba abantu ba Katonda okuluŋŋamiza obulamu bwabwe ku ntegeka eyo enkulu, ey'okutabaganya abantu bonna, ng'eyita mu kuba obumu ne Yesu Kristo.
Mu kitundu ekisooka ekya Abeefeso, omuwandiisi agenda ayungulula omulamwa ogw'okubeera obumu, ng'ayogera ku ngeri Katonda Kitaffe gye yeeronderamu abantu be, n'engeri abantu abo gye baanunulwamu Yesu Kristo ne bava mu bibi, era n'engeri ebyo byonna Katonda bye yasuubiza, gye bikakasibwamu Mwoyo Mutuukirivu.
Mu kitundu ekyokubiri omuwandiisi asaba abasomi b'ebyo by'awandiise, okubeera mu bulamu obusobozesa eky'okwegattira mu Kristo, okufuukira ddala eky'amazima mu bulamu bwabwe obwawamu.
Ebyokulabirako bingi omuwandiisi by'akozesa okulaga okubeera obumu obw'abantu ba Katonda, nga beegattidde wamu mu Kristo. Ekibiina ky'abakkiriza Kristo kiri ng'omubiri gw'omuntu, nga Kristo gwe mutwe, oba ng'ekizimbe, nga Kristo ye mpagi ey'entabiro y'ekizimbe ekyo kyonna; era oba kiri ng'omukazi, nga Kristo ye bba.
Ebbaluwa eno egenda wala mu bigambo byayo, omuwandiisi bw'asitulwa ekirowoozo ky'okusaasira kwa Katonda kw'alagira abantu mu Kristo. Buli kintu kirabirwa mu kitangaala kya kwagala, kya kwewaayo okuttibwa, kya kusonyiwa, kya kisa, na kya butukuvu, byonna ebya Kristo Yesu.
Ebiri mu bbaluwa eno mu bufunze
Ennyanjula 1:1-2
Kristo n'ekibiina ky'abamukkiriza 1:3–3:21
Obulamu obuggya mu Kristo 4:1–6:20
Okufundikira 6:21-24
Currently Selected:
ABEEFESO Ennyanjula: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.