YouVersion Logo
Search Icon

ABEEFESO 1

1
1Nze Pawulo omutume wa Kristo Yesu, nga Katonda bwe yayagala, mpandiikira abantu ba Katonda abali mu Efeso, era abeesigwa mu Kristo Yesu.#Laba ne Bik 18:19-21; 19:1 2Katonda Kitaffe ne Mukama Yesu Kristo babakwatirwe mmwe ekisa, era babawe emirembe.
Emikisa mu Kristo
3Ka twebaze Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, eyatuweera mu Kristo buli mukisa oguva mu ggulu, ogugasa omwoyo. 4Katonda, ng'ayita mu Kristo yali yamala dda okutulonda nga n'ensi tennatondebwa, tube batukuvu, era abataliiko kamogo mu maaso ge. Olw'okutwagala, 5yatufuula baana be, ng'ayita mu Yesu Kristo, nga bwe yateesa mu kusiima kwe, 6tulyoke tumutendereze olw'ekirabo kye ekyekitiibwa, kye yatuweera mu Mwana we omwagalwa.
7Olw'okufa kwa Kristo, tununulibwa ne tusonyiyibwa ebibi byaffe olw'ekisa kya Katonda ekingi ennyo#Laba ne Bak 1:14 8kye yatukwatirwa. Katonda mu magezi ge ne mu kutegeera kwe, 9yatumanyisa ekyama eky'okwagala kwe, kye yali yategeka edda okutuukiriza mu Kristo. 10Entegeka ye gy'alituukiriza ng'ekiseera kyayo kituuse, kwe kugatta awamu mu Kristo ebintu byonna, ebiri mu ggulu n'ebiri mu nsi, Kristo abe omutwe gwabyo.
11Mu Kristo mwe twalonderwa ne twawulibwa okuba abantu ba Katonda, kubanga eyo ye yali entegeka ya Katonda akola byonna nga bw'asiima, 12ffe abaasooka okuba n'essuubi mu Kristo, tulyoke tutendereze ekitiibwa kya Katonda.
13Era mu Kristo nammwe mwawulira ebigambo eby'amazima, ge Mawulire Amalungi ag'okulokolebwa kwammwe. Mwakkiriza Kristo, era ekiraga nti muli babe, Katonda yabassaako akabonero, ng'abawa Mwoyo Mutuukirivu gwe yasuubiza. 14Mwoyo Mutuukirivu oyo ye atukakasa nti Katonda bw'alimala okununula abantu be, tulifuna ebyo Katonda bye yatusuubiza, tutendereze ekitiibwa kye.
Okusaba kwa Pawulo
15N'olwekyo, okuva lwe nawulira nti mukkirizza Mukama Yesu, era nti mwagala abantu ba Katonda bonna, 16sirekangayo kwebaza Katonda ku lwammwe. Mbajjukira 17ne mbasabira, Katonda wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe oweekitiibwa, abawe Mwoyo Mutuukirivu abageziwaze, era abamanyise Katonda, mumutegeere.
18Nsaba, emyoyo gyammwe gyeyongere amagezi, mumanye ebyo Katonda bye yabasuubiza bwe mwayitibwa, era mumanye n'obugagga obungi, abantu be bwe bafuna. 19Era nsaba mumanye amaanyi ge amasukkirivu, agakolera mu ffe. Amaanyi ago, 20geego gennyini agaazuukiza Kristo, ne gamutuuza mu ggulu, ng'aliraanye Katonda ku ludda lwe olwa ddyo,#Laba ne Zab 110:1 21n'afuga abafuzi n'ab'obuyinza, n'ab'amaanyi, era n'abakungu bonna, si mu bulamu buno bwokka, naye ne mu obwo obugenda okujja.
22Katonda yassa ebintu byonna mu buyinza bwa Kristo, n'amufuula omukulembeze ow'oku ntikko ow'ekibiina ky'abamukkiriza.#Laba ne Zab 8:6#Laba ne Bak 1:18 23Ekibiina ekyo gwe mubiri gwa Kristo ogumufuula atuukiridde, ye yennyini atuukiriza byonna wonna.

Currently Selected:

ABEEFESO 1: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in