YouVersion Logo
Search Icon

ABEEFESO 5

5
Okubeera mu kitangaala
1Kale nga bwe muli abaana ba Katonda, mugezengako okumufaanana, 2era mwagalanenga, nga Kristo bwe yatwagala, ne yeewaayo eri Katonda ku lwaffe, okuba ekirabo era ekitambiro ekiwunya obulungi.#Laba ne Kuv 29:18; Zab 40:6
3Muli bantu ba Katonda, n'olwekyo obwenzi n'obugwagwa bwonna, n'okwegomba okubi tebisaana na kwogerebwa mu mmwe. 4Era temusaanira kwogera bya nsonyi, wadde eby'obusiru oba okubalaata, wabula mwebazenga Katonda. 5Mumanyire ddala kino nti omwenzi, wadde akola eby'ensonyi oba alulunkanira eby'ensi, n'abifuula Katonda we, talina mugabo mu Bwakabaka bwa Kristo ne Katonda. 6Walemenga kubaawo ababuzaabuza n'ebigambo ebitaliimu, kubanga olw'ebikolwa ebyo, obusungu bwa Katonda bukola ku bantu abajeemu 7N'olwekyo temwegattanga nabo. 8Edda mwali ba kizikiza, naye kaakano nga bwe muli aba Mukama, muli ba kitangaala. Kale mutambulenga ng'abantu ab'ekitangaala, 9kubanga mu kitangaala mwe muva obulungi bwonna obutuufu n'amazima.
10Mufubenga okumanya ekisanyusa Mukama. 11Temwegattanga n'abo abakolera mu kizikiza ebyo ebitalina mugaso, wabula mubyatuukirizenga bwatuukiriza, 12kubanga kya nsonyi n'okubyogerako ebyo bye bakola mu kyama. 13Byonna bwe bimala okwatuukirizibwa mu kitangaala, birabikira ddala nga bwe biri, 14kubanga ekyo ekiragibwa, kirabibwa. Kyebava bagamba nti:
“Zuukuka ggwe eyeebase,
ozuukire, Kristo akwakire.”
15Kale mubenga beegendereza mu bulamu bwammwe, muleme kuba ng'abatalina magezi, wabula mube ba magezi. 16Muleme kwonoona biseera, kubanga ennaku zino mbi.#Laba ne Bak 4:5 17N'olwekyo temuba balagajjavu, wabula mutegeere Mukama ky'ayagala.
18Era muleme kutamiira mwenge, kubanga mujja kweyonoona, wabula mujjuzibwe Mwoyo Mutuukirivu. 19Munyumizaganyenga mu Zabbuli, ne mu nnyimba, ne mu biyiiye Mwoyo by'abasobozesa okuyiiya. Muyimbire Mukama, nga musaakaanya amaloboozi n'omutima gwammwe gwonna.#Laba ne Bak 3:16-17 20Bulijjo mwebazenga Katonda Kitaffe olwa byonna, nga muyita mu Mukama waffe Yesu Kristo.
Abakazi ne babbaabwe
21Muwuliraganenga olw'okussaamu Kristo ekitiibwa. 22Abakazi muwulirenga babbammwe, nga bwe muwulira Mukama,#Laba ne Bak 3:18; 1 Peet 3:1 23kubanga omusajja gwe mutwe gw'omukazi, nga Kristo bw'ali omutwe gw'ekibiina ky'abamukkiriza, gwe mubiri gwe, era ye yennyini ye mulokozi waagwo. 24Nga ekibiina ky'abakkiriza Kristo bwe kiwulira Kristo, n'abakazi bwe batyo bwe basaana okuwulira babbaabwe mu byonna.
25Mmwe abasajja mwagalenga bakazi bammwe, nga Kristo bwe yayagala ekibiina ky'abamukkiriza, ne yeewaayo ku lwakyo,#Laba ne Bak 3:19; 1 Peet 3:7 26akitukuze, ng'akinaaza n'amazzi n'ekigambo, 27alyoke yeefunire ekibiina ky'abamukkiriza ekyekitiibwa, nga tekiriiko bbala na kamogo, wadde ekintu ekirala ekiri ng'ebyo. 28N'abasajja bwe batyo bwe basaana okwagala bakazi baabwe, nga bwe baagala emibiri gyabwe gyennyini. 29Tewali n'omu yali akyaye omubiri gwe, wabula aguliisa, agujjanjaba, nga Kristo bw'ajjanjaba ekibiina ky'abamukkiriza, 30kubanga tuli bitundu bya mubiri gwe. 31N'ekyawandiikibwa kigamba nti: “Omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina, n'anywerera ku mukazi we, bombi ne baba omuntu omu.”#Laba ne Nta 2:24 32Ekyama kino kikulu, era nze ŋŋamba nti kyogera ku Kristo n'ekibiina ky'abamukkiriza. 33Naye era nammwe, buli musajja ayagalenga mukazi we, nga bwe yeeyagala yennyini, era n'omukazi assengamu bba ekitiibwa.

Currently Selected:

ABEEFESO 5: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in