ABEEFESO 6
6
Abazadde n'abaana baabwe
1Abaana, bazadde bammwe mubawulirenga mu Mukama, kubanga ekyo kye kituufu.#Laba ne Bak 3:20 2“Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa,” kye kiragiro ekisooka, ekirimu okusuubiza nti:#Laba ne Kuv 20:12; Ma 5:16 3“lw'onoobanga obulungi, era n'owangaala ku nsi.”
4Mmwe abazadde b'abaana muleme kunyiizanga baana bammwe, wabula mubakuze nga mubagunjula, era nga mubayigiriza ebya Mukama.#Laba ne Bak 3:21
Abaddu ne bakama baabwe
5Abaddu, bakama bammwe ab'oku nsi mubassengamu nnyo ekitiibwa, era mubawulirenga nga temuliimu bukuusa, nga bwe muwulira Kristo.#Laba ne Bak 3:22-25 6Ekyo temukikola lwa kulabibwa, abantu balyoke babasiime, wabula ekyo Katonda ky'ayagala, mukikolenga n'omutima gwammwe gwonna, ng'abaddu ba Kristo. 7Muweerezenga n'omutima omulungi ng'abakolera Mukama, sso si ng'abakolera abantu. 8Mumanye nti buli muntu, oba muddu, oba wa ddembe, buli kirungi ky'akola, Mukama ky'alimusasula.
9Nammwe bakama b'abaddu muyisenga bwe mutyo abaddu bammwe mu mwoyo gwe gumu,nga temubatiisa. Mumanyi nti Mukama waabwe, era owammwe ali mu ggulu, era ye tasosola mu bantu.#Laba ne Ma 10:17; Bak 3:25; 4:1
Ebyokulwanyisa bya Katonda
10Eky'enkomerero, mube bagumu mu Mukama waffe, munywezebwe obuyinza bw'amaanyi ge. 11Mukozesenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okuziyiza enkwe za Sitaani. 12Tetulwanyisa bantu buntu, wabula tulwanyisa amagye g'emyoyo emibi egy'omu bbanga, egy'abakungu, egy'ab'obuyinza, n'egy'abafuzi ab'omu nsi eno ey'ekizikiza. 13N'olwekyo mukwatenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, musobole okuguma ku lunaku olw'akabi, era bwe mulimala okukola byonna, mulyoke musigale nga muli bagumu.
14Kale muyimirire nga mwenywezezza, ng'amazima lwe lukoba lwe mwesibye mu kiwato kyammwe, ate ng'okukola ebituufu, kye kyambalo kyammwe eky'ekyuma eky'omu kifuba.#Laba ne Yis 11:5; 59:17 15Okwetegeka kwammwe kubabeerere ng'engatto mu bigere byammwe, nga mugenda okulangirira Amawulire Amalungi, agaleeta emirembe.#Laba ne Yis 52:7 16Okusinga byonna, okukkiriza kubabeerere engabo eneebasobozesanga okuziyiza obusaale bwonna obw'omuliro, obulasibwa Omubi. 17Era mwetikkire obulokozi nga ye nkuufiira yammwe eŋŋumu, mukwate n'ekitala eky'omwoyo, kye kigambo kya Katonda.#Laba ne Yis 59:17
18Bulijjo musabenga Katonda, nga mumwegayirira abayambe. Mumusabenga nga Mwoyo bw'anaabaluŋŋamyanga. Ekyo mukikolenga nga temuterebuka, musabirenga abantu ba Katonda bonna. 19Nange munsabire, bwe nnaabanga njogera, mpeebwe eby'okwogera, era mbyogere n'obuvumu, nga mmanyisa abantu ekyama ky'Amawulire Amalungi. 20Ndi mubaka w'Amawulire ago Amalungi newaakubadde nga ndi mu kkomera. Munsabire mbe n'obuvumu mu kugamanyisa abantu nga bwe kinsaanira.
21Tukiko, owooluganda omwagalwa era omuweereza omwesigwa owa Mukama, alibategeeza byonna, mulyoke mumanye ebinfaako ne bye nkola.#Laba ne Bik 20:4; 2 Tim 4:12#Laba ne Bak 4:7-8 22Mmutumye gye muli, mulyoke mumanye bwe tuli, era abagumye emitima.
23Emirembe n'okwagala, awamu n'okukkiriza, ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama Yesu Kristo, bibeerenga n'abooluganda bonna. 24Katonda akwatirwenga ekisa abo bonna abaagala Mukama waffe Yesu Kristo, emirembe n'emirembe.
Currently Selected:
ABEEFESO 6: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: