YouVersion Logo
Search Icon

ABEEFESO 4

4
Okuba ab'omubiri ogumu
1Nze eyasibibwa olwa Mukama, kyenva mbeegayirira mmwe, mube n'empisa ezisaanira obulamu bwe mwayitirwa. 2Mube bakkakkamu, bawombeefu era bagumiikiriza. Mulage okwagalana kwammwe, nga buli omu agumiikiriza munne.#Laba ne Bak 3:12-13 3Mwoyo Mutuukirivu yabafuula omu. Mufube okunywerera mu mirembe egibagatta awamu. 4Omubiri guli gumu, ne Mwoyo omu, ng'ekyo kye mwayitirwa era kye musuubira bwe kiri ekimu. 5Mukama ali omu, n'okukkiriza kumu, n'okubatizibwa kumu, 6Katonda omu, Kitaawe wa bonna, afuga byonna, akolera mu byonna, era abeera mu byonna.
7Kyokka buli omu mu ffe yaweebwa ekirabo ekyenjawulo, nga Kristo bwe yamugerera. 8Ekyawandiikibwa kyekiva kigamba nti:
“Bwe yalinnya mu ggulu,
yatwala abasibe,
n'awa abantu ebirabo.”#Laba ne Zab 68:18
9Okugamba nti yalinnya, kitegeeza ki? Kitegeeza nti yasooka kukka mu bitundu ebya wansi w'ensi. 10Oyo eyakka, ye wuuyo eyalinnya ewala ennyo, n'ayisa eggulu lyonna, alyoke ajjuze byonna. 11Era ye omu oyo eyawa abamu okuba abatume, abalala okuba abalanzi, abalala okutegeeza abantu Amawulire Amalungi, abalala okuba abasumba b'emyoyo, n'abalala okuba abayigiriza. 12Ekyo yakikola olw'okutendeka abantu ba Katonda mu mulimu gw'okuweereza, era n'okuzimba omubiri gwa Kristo, 13okutuusa ffenna lwe tulibeera n'okukkiriza okumu, n'okumanya Omwana wa Katonda, tube bakulu mu by'omwoyo, abatuukiridde mu bulamu bwa Kristo. 14Olwo nga tetukyali baana bato, abazzibwa eno n'eri, abatwalibwa mu muyaga gw'enjigiriza y'abantu abakuusa, abakyamya abalala olw'enkwe ze basala. 15Naye tube ba mazima era abaagalana, tulyoke tukule mu byonna okutuuka ku kwegattira ddala ne Kristo, omutwe gwaffe. 16Kristo oyo ye aleetera omubiri gwonna okwegatta awamu, ennyingo ezigulimu zonna ne zinywezebwa, buli kitundu ne kikola omulimu gwakyo. Olwo omubiri ne gukula, ne guzimbibwa mu kwagalana.#Laba ne Bak 2:19
17Kale kye ŋŋamba, era kye ntegeeza mu linnya lya Mukama kye kino, nti mulekere awo okuyisa ng'abantu ab'ensi bwe bayisa, nga bagoberera ebirowoozo byabwe ebitaliimu. 18Amagezi gaabwe gajjudde ekizikiza. Tebalina mugabo mu by'obulamu bwa Katonda, kubanga bajjudde obutamanya, era emitima gyabwe mikakanyavu. 19Tebakyalina nsonyi. Beemalidde mu bya buwemu, era balina omululu ogw'okukola eby'obugwenyufu ebya buli ngeri.
20Kyokka mmwe, Kristo temwamuyiga bwe mutyo. 21Ddala mwawulirako, era mmwe ng'ababe, mwayigirizibwa amazima agali mu Yesu. 22Kale muleme kuba bantu ab'embeera ey'edda gye mwalimu, eyayonooneka olw'okwegomba okw'obulimba.#Laba ne Bak 3:9 23Mufuuke baggya mu mwoyo ne mu birowoozo byammwe. 24Mube bantu baggya, abaatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu bwesimbu ne mu butukuvu obw'amazima.#Laba ne Nta 1:26; Bak 3:10
25N'olwekyo, muleke obulimba. Buli muntu ategeezenga munne amazima, kubanga tuli bitundu bya mubiri gumu.#Laba ne Zek 8:16 26Bwe wabaawo ekibasunguwaza, mwekuume kireme kubakozesa kibi. Temuzibyanga budde nga mukyasibye obusungu,#Laba ne Zab 4:4 27era temwereeterezanga Sitaani. 28Abadde abba, alekere awo okubba, wabula anyiikire okukola emirimu, ng'akozesa emikono gye, alyoke abe ne ky'awa abo abeetaaga. 29Akamwa kammwe kalemenga okwogera ekigambo ekibi ekitasaana, wabula koogerenga ebyo byokka ebirungi ebizimba era ebisaana, biryoke bigase abo ababiwulira. 30Era temunakuwazanga Mwoyo Mutuukirivu wa Katonda, kubanga Mwoyo ke kabonero kwe mulimanyirwa ku lunaku olw'okununulibwa. 31Okunyiiga, okusunguwala, okukaayana, okuvuma, na buli bubi bwonna, bibavengamu. 32Mubenga ba kisa, buli omu alumirwenga munne, era musonyiwaganenga, nga Katonda bwe yabasonyiwa mmwe mu Kristo.#Laba ne Bak 3:13

Currently Selected:

ABEEFESO 4: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in