YouVersion Logo
Search Icon

ABEEFESO 3

3
Omulimu gwa Pawulo mu b'amawanga amalala
1Olw'ensonga eyo, nze Pawulo omusibe wa Yesu Kristo ku lwammwe ab'amawanga amalala, mbasabira eri Katonda. 2Ndowooza mwawulira nga Katonda yankwasa omulimu ogw'okubategeeza mmwe ebifa ku kisa kye, 3era nga yandaga ekyama kye, nga bwe nawandiika mu bimpimpi. 4Bwe munaasoma bye nawandiika, munaamanya nga bwe ntegeera ekyama kya Kristo.#Laba ne Bak 1:26-27
5Mu mirembe egy'edda, abantu tebaategeezebwa kyama kino, naye kaakano Katonda akibikkulidde abatume be abatukuvu n'abalanzi, ng'ayita mu Mwoyo Mutuukirivu. 6Ekyama kye kino nti olw'Amawulire Amalungi, Abayudaaya n'ab'amawanga amalala balina ebisaanyizo bye bimu. Bonna bye bitundu eby'omubiri ogumu, era bagabanira wamu ebyo Katonda bye yasuubiza ng'ayita mu Kristo Yesu.
7Katonda olw'ekisa kye, yampa ekirabo, amaanyi ge ne gakola mu nze, n'anfuula omuweereza w'Amawulire Amalungi. 8Nze asembayo mu bantu ba Katonda bonna, Katonda yampa omukisa guno okutegeeza ab'amawanga amalala Amawulire Amalungi ag'obugagga bwa Kristo obutaggwaawo. 9Era yampa omukisa okumanyisa abantu bonna ebifa ku kyama kino, Katonda eyatonda byonna kye yali akisizza okuva edda n'edda lyonna. 10Kaakano ng'ayita mu kibiina ky'abakkiriza Kristo, ayagala amanyise abafuzi n'ab'obuyinza abali mu ggulu, amagezi ge agatakoma. 11Ekyo yakiteekateeka okuva edda n'edda lyonna, n'akituukiririza mu Kristo Yesu Mukama waffe. 12Olw'okwegatta awamu ne Kristo oyo, era n'olw'okumukkiriza, tuguma ne tusembera eri Katonda nga tetutya. 13Kyenva mbeegayirira, muleme kuterebuka olw'okulaba nga mbonaabona ku lwammwe, kubanga okubonaabona kwange okwo, mmwe kubaweesa kitiibwa.
Okwagala kwa Kristo
14Kyenva nfukaamirira Katonda Kitaffe, 15ebika byonna eby'omu ggulu n'eby'oku nsi mwe bisibuka, 16ne mmusaba ye oweekitiibwa ekingi, abajjuze mmwe amaanyi aga Mwoyo we, 17Kristo alyoke abeere mu mitima gyammwe, olw'okukkiriza kwe mulina. Mubeerere ddala mu kwagala, era mukunywereremu, 18mmwe awamu n'abantu ba Katonda bonna, musobole okutegeerera ddala obugazi, n'obuwanvu, n'obugulumivu, n'okukka wansi eby'okwagala kwa Kristo. 19Nsaba mumanye okwagala kwa Kristo okusukkiridde okutegeera kwonna, mulyoke mujjulire ddala Katonda.
20Katonda oyo ayinza okukola ebisingira ddala ebyo bye tusaba oba bye tulowooza, olw'amaanyi ge agakolera mu ffe, 21aweebwe ekitiibwa mu kibiina ky'abakkiriza Kristo, ne mu Kristo Yesu, kaakano ne mu mirembe egitaggwaawo. Amiina.

Currently Selected:

ABEEFESO 3: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in