ABEEFESO 2
2
Okuggyibwa mu kufa n'okufuulibwa abalamu
1Nammwe mwali mufiiridde mu bujeemu ne mu bibi byammwe.#Laba ne Bak 2:13 2Mwagobereranga empisa embi ez'ensi, nga mufugibwa omwoyo gw'omukulu w'obuyinza obw'omu bbanga, ogwo kati ogufuga abo abajeemera Katonda. 3Naffe ffenna twali bajeemu nga bo, nga tutwalibwa okwegomba kwaffe okubi okw'omubiri, era nga tukola ebyo omubiri n'amagezi gaffe bye byagala. Okufaanana ng'abantu abalala bonna, naffe twali tuteekwa buteekwa okubonerezebwa Katonda.
4Kyokka Katonda ow'ekisa ekingi era atwagala ennyo, 5bwe twali nga tufiiridde mu bujeemu bwaffe, yatuzuukiza wamu ne Kristo. Mwalokolebwa lwa kisa kya Katonda. 6Nga tuli mu Kristo Yesu, Katonda yatuzuukiza wamu naye, era n'atutuuza wamu ne Kristo oyo mu ggulu. 7Yakola ekyo alyoke alage mu mirembe egigenda okujja, obulungi bwe n'ekisa kye ekingi ennyo, kye yatukwatirwa mu Kristo Yesu, 8kubanga bwe mwakkiriza, mwalokolebwa lwa kisa kya Katonda. Okulokolebwa kwammwe tekwava ku mmwe, wabula kyali kirabo kya Katonda. 9Tekwava mu bikolwa byammwe ebirungi, waleme kubaawo yeenyumiriza. 10Katonda ye yatutonda ne tuba nga bwe tuli, twatonderwa mu Kristo Yesu, tukolenga ebikolwa ebirungi, Katonda bye yatuteekerateekera okukolanga.
Tuli omu mu Kristo
11Mmwe abaazaalibwa nga muli ba mawanga malala, Abayudaaya be bayita abatali bakomole (kubanga bo beeyita bakomole, abakomolebwa abantu) mujjukire bwe mwali mu biseera ebyayita. 12Olwo temwalina Kristo. Mwali Bannamawanga, nga temubalirwa mu ggwanga lya Yisirayeli. Era temwalina mugabo mu ndagaano ezirimu ebyo Katonda bye yasuubiza. Mwali mu nsi nga temulina ssuubi, era nga temulina Katonda.
13Naye kaakano, olw'okwegatta awamu ne Kristo Yesu, mmwe edda abaali batwesudde ewala, mwaleetebwa kumpi olw'okufa kwa Kristo. 14Kristo ye yatuleetera emirembe ne tuba omuntu omu, bwe yawaayo omubiri gwe, n'amenyawo ekisenge eky'obulabe ekyatwawulanga. 15Yadibya etteeka ly'Abayudaaya ne byonna bye lyalagiranga, alyoke afuule Abayudaaya n'ab'amawanga amalala eggwanga limu eriggya, eryegattidde mu ye yennyini, bw'atyo n'aleeta emirembe.#Laba ne Bak 2:14 16Yafiira ku musaalaba alyoke amalewo obulabe, era atukomyewo ffenna eri Katonda, nga tuli omuntu omu.#Laba ne Bak 1:20 17Mmwe abaali ewala, Kristo yajja n'abategeeza Amawulire Amalungi ag'emirembe, n'agategeeza n'abo abaali okumpi.#Laba ne Yis 57:19 18Ffenna tuyita mu ye, nga tuli mu Mwoyo omu, ne tusobola okutuuka mu maaso ga Kitaffe.
19N'olwekyo temukyali Bannamawanga oba abagwira, wabula muli ba kika kimu n'abantu ba Katonda, era muli ba mu nnyumba ya Katonda. 20Mwazimbibwa ku musingi, be batume n'abalanzi, nga Kristo lye jjinja ekkulu ery'entabiro. 21Mu ye ekizimbe kyonna mwe kinywerera, ne kikula, ne kiba essinzizo ettukuvu erya Mukama. 22Era mu ye, mmwe naffe Mwoyo atuzimba, ne tuba ekisulo kya Katonda.
Currently Selected:
ABEEFESO 2: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: