ABAKOLOSAAYI 4
4
1Bakama b'abaddu, muyisenga bulungi abaddu bammwe, nga muli benkanya, nga mumanyi nti nammwe mulina Mukama wammwe mu ggulu.#Laba ne Beef 6:9 2Munyiikirenga okusinza Katonda, nga temuddirira, era nga mumwebaza. 3Era naffe mutusabirenga, Katonda atuggulirewo oluggi, tutegeeze abantu ekigambo kye, tubamanyise ekyama kya Kristo. Era ekyo kye kyansibisa mu kkomera. 4Munsabire nkitegeeze abantu mu ngeri yennyini gye nsaana okukibategeezaamu.
5Abo abatannafuna kukkiriza, mukolaganenga nabo n'amagezi, nga mukozesa buli mukisa gwe mulina.#Laba ne Beef 5:16 6Bulijjo mwogerenga mu ngeri enyuma era esanyusa, era mumanyenga engeri gye musaana okwanukulamu buli omu.
Ebikomererayo
7Tukiko owooluganda omwagalwa, omuweereza omwesigwa era mukozi munnaffe mu mulimu gwa Mukama waffe, ajja kubategeeza byonna ebyantuukako.#Laba ne Bik 20:4; 2 Tim 4:12#Laba ne Beef 6:21-22 8Kyenvudde mmutuma gye muli, mumanye nga bwe tuli, era agumye emitima gyammwe. 9Era awamu naye, ntumye Onesimo owooluganda era omwagalwa, ow'ewammwe. Bajja kubategeeza byonna ebifa eno.#Laba ne Fil 10-12
10Arisitaruuko musibe munnange, ne Mariko omujjwa wa Barunaba babalamusizza. Mariko oyo, gwe nabagambako. Bw'ajjanga gye muli mumwanirizanga.#Laba ne Bik 12:12,25; 13:13; 15:37-39; 19:29; 27:2; Fil 24 11Ne Yesu, ayitibwa Yusto, abalamusizza. Abo be bokka ab'omu bakomole abakola nange omulimu ogw'Obwakabaka bwa Katonda, era abanzizizzaamu ennyo amaanyi.
12Epafura ow'ewammwe, omuweereza wa Kristo Yesu, abalamusizza. Era bulijjo abasabira nnyo, mube batuukirivu, abategeeredde ddala Katonda by'ayagala.#Laba ne Bak 1:7; Fil 23 13Nkikakasa nti Epafura, mmwe awamu n'ab'omu Lawodiikiya, era n'ab'omu Yerapoli, abakoleredde nnyo.
14Lukka omusawo omwagalwa, ne Dema babalamusizza.#Laba ne 2 Tim 4:10,11; Fil 24
15Mulamuse abooluganda ab'omu Lawodiikiya. Era mulamuse Nunfa, n'ab'ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'e Lawodiikiya. 16Ebbaluwa eno bw'emala okusomebwa mu mmwe, mulabe nti esomerwa n'ab'ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'e Lawodiikiya. Era nammwe musome ebbaluwa eriva e Lawodiikiya. 17Era mugambe Arikipo nti: “Fuba okutuukiriza omulimu gwa Mukama waffe gwe wakwasibwa.”#Laba ne Fil 2
18Nze Pawulo, nze mpandiise n'omukono gwange okulamusa kuno. Munzijukire mu busibe bwange. Katonda abakwatirwenga mmwe ekisa.
Currently Selected:
ABAKOLOSAAYI 4: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.