1 ABATESSALONIKA Ennyanjula
Ennyanjula
Tessalonika kye kyali ekibuga ekikulu eky'ettwale ly'Abarooma ery'e Makedooniya. Pawulo yatandikawo mu Tessalonika ekibiina ky'abakkiriza Kristo, ng'avudde e Filippi. Naye waayita ebbanga ttono, Abayudaaya ne bamuyigganya olw'okumukwatirwa obuggya, bwe yasobola okumatiza ab'amawanga amalala abaali baagala eddiini y'Ekiyudaaya, n'abakkirizisa obubaka bwe yababuulira obufa ku Kristo. Olw'okuyigganyizibwa okwo, Pawulo n'ava e Tessalonika n'addukira e Bereya. Oluvannyumako ng'amaze okutuuka e Korinto, munne bwe baakolanga ayitibwa Timuteewo, n'ajja n'amutegeeza embeera nga bw'eri mu kibiina ky'abakkiriza Kristo eky'e Tessalonika. Pawulo n'alyoka awandiikira Abakristo ab'e Tessalonika ebbaluwa eno embereberye okubagumya.
Yeebaza Katonda olw'amawulire agafa ku bakkiriza ne ku kwagalana kwabwe. Abajjukiza obulamu bwe nga bwe bwali ng'ali nabo, n'alyoka addamu ebibuuzo ebyali bisituseewo mu kibiina kyabwe eky'abakkiriza Kristo nga bifa ku kudda kwa Kristo. Baali beebuuza ebibuuzo nga bino: Omuntu akkiriza, afa nga Kristo tannadda, aligabana ku bulamu obw'olubeerera, Kristo bw'alireeta ng'akomyewo? Era Kristo alikomawo ddi? Pawulo akozesa omukisa guno okubakubiriza bongere okukola nga bakkakkamu, nga bwe balinda n'essuubi okudda kwa Kristo.
Ebiri mu bbaluwa eno mu bufunze
Okwebaza n'okutendereza Katonda 1:2–3:13
Okubuulirira Abakristo babe ba mpisa nnungi 4:1-12
Okuyigiriza ku kudda kwa Kristo 4:13–5:11
Okwongera okubuulirira 5:12-24
Okufundikira 5:25-28
Currently Selected:
1 ABATESSALONIKA Ennyanjula: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.