YouVersion Logo
Search Icon

ABAKOLOSAAYI 1

1
Okulamusa
1Nze Pawulo omutume wa Kristo Yesu, nga Katonda bwe yayagala, era n'owooluganda Timoteewo, 2tuwandiikira mmwe abantu ba Katonda, era abooluganda abeesigwa mu Kristo, abali mu Kolosaayi. Katonda Kitaffe abakwatirwe mmwe ekisa era abawe emirembe. 3Bulijjo twebaza Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, nga tubasabira mmwe, 4okuva lwe twawulira nga bwe mukkiriza Kristo Yesu, era nga bwe mwagala abantu ba Katonda bonna. 5Ebyo byombi mubikola kubanga mulina essuubi ery'okufuna ebirungi ebibaterekeddwa mu ggulu. Essuubi eryo mwalifuna bwe mwategeezebwa ekigambo eky'amazima, ge Mawulire Amalungi 6agagenda gabuna mu nsi yonna, era nga gakola ekyo kye gakoze mu mmwe, okuviira ddala ku lunaku lwe mwasooka okuwulira ku kisa kya Katonda, ne mukitegeerera ddala mu mazima, 7nga bwe kyabayigirizibwa Epafura mukozi munnaffe omwagalwa, omuweereza omwesigwa owa Kristo ku lwaffe.#Laba ne Bak 4:12; Fil 23 8Era ye yatutegeeza okwagala kwammwe, Mwoyo Mutuukirivu kw'abawadde.
9Kale naffe okuva lwe twawulira ekyo, tetulekangayo kubasabira na kwegayirira Katonda, abajjuze okumanya by'ayagala, nga mubimanya mu magezi gonna, n'okutegeera okw'omwoyo. 10Olwo mulisobola okuba nga Mukama bw'ayagala, nga mumusanyusa mu byonna. Muliba ba mugaso mu buli kirungi kye mukola, era mulyeyongera okumanya Katonda. 11Obuyinza bwe obwekitiibwa bulibawa amaanyi gonna, musobole okugumira byonna n'obugumiikiriza, nga muli basanyufu, 12nga bwe mwebaza Kitaffe eyabasaanyiza okuba awamu n'abantu be mu kitangaala. 13Yatuwonya obuyinza bw'ekizikiza, n'atutwala mu bwakabaka bw'Omwana we omwagalwa, 14eyatununula n'atusonyiwa ebibi byaffe.#Laba ne Beef 1:7
Kristo n'omulimu gwe
15Kristo yennyini gwe tulabiramu Katonda atalabika, era ye mwana omubereberye, akulira ebitonde byonna. 16Ebintu byonna ebiri mu ggulu n'ebiri ku nsi, ebirabika n'ebitalabika, newaakubadde entebe ez'obwakabaka, n'obufuzi bw'amatwale, wadde abakungu n'ab'obuyinza, byonna byatonderwa mu ye era ku lulwe. 17Ye yaliwo ng'ebintu byonna tebinnatondebwa; era byonna bibeerawo mu ye. 18Ekibiina ky'abamukkiriza gwe mubiri gwe, era ye gwe mutwe gwakyo. Ye y'entandikwa, ye mubereberye mu kuzuukira, kyava aba omubereberye mu byonna.#Laba ne Beef 1:22-23 19Katonda yasiima okutuukirira kwonna kubeerenga mu Kristo. 20Era yasiima ayite mu ye okutabagana n'ebintu byonna, ebiri mu ggulu n'ebiri mu nsi, ng'aleetawo emirembe olw'okufa kwa Kristo oyo, eyafiira ku musaalaba.#Laba ne Beef 2:16
21Nammwe edda mwali mweyawudde ku Katonda, era nga muli balabe be olw'ebirowoozo byammwe n'ebikolwa byammwe ebibi. 22Naye kaakano Katonda yatabagana nammwe, mu mubiri gwa Kristo eyafa, alyoke abanjule nga muli batukuvu, abataliiko kamogo wadde omusango mu maaso ga Katonda. 23Kyokka muteekwa okuba mu kukkiriza, nga muli banywevu, nga temusagaasagana, era nga temuvudde mu kusuubira kwe mwafuna mu Mawulire Amalungi ge mwawulira. Amawulire Amalungi ago, gatuusiddwa ku bantu bonna abali ku nsi, era nze Pawulo, nafuulibwa omuweereza waago.
Obuweereza bwa Pawulo
24Kaakano nsanyuka olw'okubonaabona kwe mbonaabonamu ku lwammwe. Era okubonaabona kwange mu mubiri, kutuukiriza ebyo ebyasigalira ku kubonaabona kwa Kristo olw'omubiri gwe, kye kibiina ky'abamukkiriza. 25Katonda yanfuula omuweereza w'ekibiina ky'abakkiriza Kristo, n'ampa omulimu ogw'okumanyisiza ddala ekigambo kye ku lwammwe. 26Ekigambo kye ekyo, kye kyama ekyali kikisiddwa eri abantu ab'emirembe egy'edda. Naye kaakano akimanyisizza abantu be. 27Katonda yayagala okukimanyisa nga bwe kiri eky'omuwendo, era ekyekitiibwa ennyo mu mawanga. Ekyama ekyo ye Kristo ali mu mmwe, era n'ekitiibwa kye musuubira okufuna. 28Kristo oyo gwe tumanyisa mu bantu. Tulabula, era tuyigiriza buli omu, nga tukozesa amagezi gonna, tulyoke tuleete buli muntu eri Katonda, ng'atuukiridde mu Kristo. 29Ekyo kye nteganira, ne nfuba nga neesiga amaanyi ga Katonda ag'obuyinza, agakolera mu nze.

Currently Selected:

ABAKOLOSAAYI 1: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in