EBIKOLWA 6
6
Ababeezi omusanvu
1Awo mu nnaku ezo, abayigirizwa bwe beeyongera obungi, Abayudaaya aboogera Oluyonaani ne beemulugunyiza bannaabwe aboogera Olwebureeyi, kubanga bannamwandu baabwe tebaaweebwanga bulungi bintu ebyagabibwanga buli lunaku. 2Awo abatume ekkumi n'ababiri ne bayita abayigirizwa bonna, ne babagamba nti: “Tekisaana ffe okuleka okuyigiriza ekigambo kya Katonda, ne tudda mu kugabanya ebintu. 3Kale abooluganda, mulonde mu mmwe abasajja musanvu be musiima, abajjudde Mwoyo Mutuukirivu n'amagezi, be tuba tukwasa omulimu ogwo. 4Naye ffe tujja kwemalira ku kusinza Katonda na kuyigiriza kigambo kye.” 5Kye baayogera ne kisanyusa ekibiina kyonna. Ne balonda Siteefano omusajja ajjudde Mwoyo Mutuukirivu, ne Filipo, ne Purokoro, ne Nikanori, ne Timoone, ne Parumena, ne Nikolaawo ow'e Antiyookiya, eyali asomye Ekiyudaaya. 6Ne babaleeta, ne babateeka mu maaso g'abatume, ne beegayirira Katonda, era ne babateekako emikono gyabwe. 7Awo ekigambo kya Katonda ne kyeyongera okubuna. Mu Yerusaalemu omuwendo gw'abayigirizwa ne gugenda nga gweyongera, ne bakabona bangi ne bafuuka abagoberezi ba Yesu.
Siteefano akwatibwa
8Awo Siteefano ng'ajjudde amaanyi n'ekisa Katonda kye yamukwatirwa, n'akola ebyamagero n'ebyewuunyo bingi mu bantu. 9Kyokka abantu abamu ab'ekkuŋŋaaniro eriyitibwa ery'Abanunule, abaava mu Kireene, ne mu Alekisanderiya, n'abalala abaava mu Kilikiya ne mu Asiya, ne bawakana naye. 10Kyokka ne batamusobola, olw'amagezi ge yayogeza, nga gamuweebwa Mwoyo Mutuukirivu. 11Awo ne bafukuutirira abantu bagambe nti: “Twamuwulira ng'ayogera ebigambo eby'okuvuma Musa ne Katonda.” 12Mu ngeri eyo ne batabangula abantu abakulu mu ggwanga, n'abannyonnyozi b'amateeka era n'abantu abalala. Ne bajja eri Siteefano, ne bamukwata, ne bamuleeta mu lukiiko. 13Ne baleeta abajulizi ab'obulimba abaagamba nti: “Omuntu ono bulijjo ayogera ebigambo ebivuma ekifo kino ekitukuvu era n'amateeka ga Musa, 14kubanga twamuwulira ng'agamba nti Yesu Omunazaareeti ajja kuzikiriza ekifo kino, akyuse n'empisa Musa ze yatuwa.” 15Bonna abaali mu lukiiko ne bamutunuulira, ne balaba amaaso ge nga gali ng'aga malayika.
Currently Selected:
EBIKOLWA 6: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.