YouVersion Logo
Search Icon

EBIKOLWA 7

7
Okwogera kwa Siteefano
1Awo Ssaabakabona n'abuuza Siteefano nti: “Ebyo bwe biri bwe bityo?” 2Siteefano n'agamba nti: “Abasajja abooluganda ne bassebo, muwulire: Katonda oweekitiibwa yalabikira jjajjaffe Aburahamu ng'ali e Mesopotaamiya, nga tannabeera mu Karani,#Laba ne Nta 12:1 3n'amugamba nti: ‘Va mu nsi yammwe ne mu bantu bo, ogende mu nsi gye ndikulaga.’ 4Awo n'aleka ensi y'Abakaludaaya, n'abeera mu Karani. Kitaawe bwe yamala okufa, Katonda n'aggyayo Aburahamu, n'amuleeta mu nsi eno mwe muli kati.#Laba ne Nta 11:31; 12:4 5N'atagimuwaamu ttaka, wadde akatundu akaweza ekigere ekimu. Kyokka n'amusuubiza okugimuwa ebe yiye ne bazzukulu be abaliddawo, sso nga yali talina mwana.#Laba ne Nta 12:7; 13:15; 15:18; 17:8
6“Katonda yagamba Aburahamu nti: ‘Ab'ezzadde lyo balibeera mu nsi ey'eggwanga eddala, eriribafuga obuddu. Balibayisa bubi okumala ebbanga lya myaka ebikumi bina.#Laba ne Nta 15:13-14 7Naye nze ndisala omusango ne gusinga eggwanga eriribafuula abaddu, era oluvannyuma balivaayo ne bansinziza mu kifo kino.’#Laba ne Kuv 3:12 8Awo n'akola endagaano eyakakasibwa n'okukomola. Bw'atyo Aburahamu bwe yazaala Yisaaka, n'amukomola ku lunaku olw'omunaana. Yisaaka n'azaala Yakobo, Yakobo n'azaala bajjajjaffe abakulu ekkumi n'ababiri, era bonna baakomolebwa.#Laba ne Nta 17:10-14; 21:2-4; 25:26; 29:31–35:18
9“Bajjajjaffe abakulu baakwatirwa Yosefu obuggya, ne bamutunda mu Misiri. Kyokka Katonda yali naye,#Laba ne Nta 37:11,28; 39:2,21 10n'amuwonya mu kubonaabona kwe kwonna, n'amuwa amagezi n'okuganja eri Faraawo kabaka w'e Misiri, eyamufuula omufuzi mu Misiri ne mu lubiri lwe lwonna.#Laba ne Nta 41:39-41 11Awo enjala nnyingi n'egwa mu Misiri yonna ne mu Kanaani, okubonaabona ne kuba kungi. Bajjajjaffe ne balumwa enjala.#Laba ne Nta 42:1-2 12Kyokka Yakobo bwe yawulira nga mu Misiri eriyo emmere, n'atuma bajjajjaffe omulundi ogwasooka. 13Ku mulundi ogwokubiri, Yosefu n'amanyibwa baganda be, n'olulyo lwe ne lumanyibwa Faraawo.#Laba ne Nta 45:1,16 14Awo Yosefu n'atuma, n'ayita baganda be bonna ne kitaawe, Yakobo. Bonna awamu baali abantu nsanvu.#Laba ne Nta 45:9-10; 17:18; Nta 46:27 15Yakobo n'aserengeta e Misiri. Ye ne bajjajjaffe gye baafiira.#Laba ne Nta 46:1-7; 49:33 16Emirambo gyabwe ne gitwalibwa e Sekemu ne gigalamizibwa mu ntaana Aburahamu gye yagula ku bazzukulu ba Hamori mu Sekemu.#Laba ne Nta 23:3-16; 33:19; 50:7-13; Yos 24:32
17“Naye ekiseera Katonda kye yasuubiza Aburahamu bwe kyali kisembedde, bajjajjaffe ne baala, ne babeera bangi mu Misiri,#Laba ne Kuv 1:7-8 18okutuusa lwe waabaawo kabaka omulala ataamanya Yosefu. 19Oyo n'asalira eggwanga lyaffe enkwe, n'abonyaabonya nnyo bajjajjaffe, n'abasuuzanga abaana baabwe abawere, bafe.#Laba ne Kuv 1:10-11,22 20Mu kiseera ekyo Musa n'azaalibwa, nga mwana mulungi nnyo. Ne bamuyonseza emyezi esatu mu nnyumba ya kitaawe.#Laba ne Kuv 2:2 21Bwe yasuulibwa, muwala wa Faraawo n'amutwala, n'amukuza ng'omwana we.#Laba ne Kuv 2:3-10 22Musa n'ayigirizibwa amagezi gonna ag'Abamisiri, n'aba wa maanyi mu bigambo bye ne mu bikolwa bye.
23“Musa bwe yaweza emyaka amakumi ana, n'ajjirwa ekirowoozo eky'okukyalira baganda be Abayisirayeli.#Laba ne Kuv 2:11-15 24Bwe yalaba omu ku bo ng'ayisibwa bubi, n'amulwanirira n'amutaasa, n'atta Omumisiri. 25Ye yalowooza nti baganda be bategedde nga Katonda agenda kuyita mu ye okubanunula, kyokka bo tebaakitegeera. 26Olunaku olwaddirira, n'asanga Abayisirayeli babiri nga balwana, n'agezaako okubatabaganya ng'agamba nti: ‘Basajja mmwe, muli baaluganda, lwaki mulwanagana?’ 27Naye oli eyali akuba munne, n'asindika eri Musa, ng'agamba nti: ‘Ani yakufuula omufuzi era omulamuzi waffe? 28Oyagala kunzita nga bwe watta Omumisiri jjo?’
29“Musa bwe yawulira ebyo n'adduka, n'awaŋŋangukira mu nsi y'e Midiyaani, n'azaalirayo abaana ab'obulenzi babiri.#Laba ne Kuv 18:3-4 30Bwe waayitawo emyaka amakumi ana, malayika wa Mukama n'alabikira Musa mu nnimi ez'omuliro ogwali gwakira mu kisaka mu ddungu, okumpi n'olusozi Sinaayi.#Laba ne Kuv 3:1-10 31Musa bwe yakiraba, ne yeewuunya ky'alabye. Bwe yali ng'asembera okwetegereza, eddoboozi lya Mukama ne limugamba nti: 32‘Nze Katonda wa bajjajjaabo, Katonda wa Aburahamu, era owa Yisaaka, era owa Yakobo.’ Musa n'akankana, n'atya okutunuulira nate. 33Mukama n'amugamba nti: ‘Ggyamu engatto mu bigere byo, kubanga ekifo ky'oyimiriddemu kitukuvu. 34Ntunudde ne ndaba abantu bange abali mu Misiri bwe babonyaabonyezebwa, mpulidde okusinda kwabwe, ne nzika okubawonya. Kale jjangu nkutume e Misiri.’
35“Musa oyo gwe baagaana nga bagamba nti: ‘Ani yakufuula omufuzi era omulamuzi waffe?’ Katonda gwe yatuma ng'ayita mu malayika eyamulabikira mu kisaka, abe omufuzi era omununuzi.#Laba ne Kuv 2:14 36Ye yabakulembera ng'akola ebyamagero n'ebyewuunyo mu nsi y'e Misiri, ne mu nnyanja emmyufu ne mu ddungu, emyaka amakumi ana.#Laba ne Kuv 7:3; 14:21; Kubal 14:33 37Era Musa oyo ye yagamba Abayisirayeli nti: ‘Katonda alibatumira omulanzi aliva mu baganda bammwe, nga bwe yabatumira nze.’#Laba ne Ma 8:15,18 38Musa ye wuuyo eyaliwo Abayisirayeli bonna bwe baakuŋŋaanira mu ddungu. Yali ne malayika eyayogera naye ku Lusozi Sinaayi, era eyali ne bajjajjaffe. Ye wuuyo eyaweebwa ebigambo by'obulamu okubituwa.#Laba ne Kuv 19:1–20:17; Ma 5:1-33
39“Bajjajjaffe baagaana okumuwulira ne bamwesammulako, emitima gyabwe ne giddayo e Misiri. 40Ne bagamba Arooni nti: ‘Tukolere balubaale abanaatukulembera, kubanga Musa oyo eyatuggya mu nsi y'e Misiri tetumanyi ky'abadde.’#Laba ne Kuv 32:1 41Awo ne bakola ekifaananyi ky'ennyana, ne bawaayo ebitambiro eri ekifaananyi ekyo, ne basanyukira ekintu ekyo kye beekoledde.#Laba ne Kuv 32:2-6 42Kyokka Katonda n'abavaako, n'abawaayo okusinzanga emmunyeenye ez'oku ggulu, nga bwe kisangibwa mu byawandiikibwa abalanzi nti:
‘Mmwe Abayisirayeli,
ensolo ezattibwanga
era n'ebitambiro
mwabiwanga nze
mu myaka amakumi ana
gye mwamala mu ddungu?#Laba ne Am 5:25-27
43Nedda, mwasitula weema
ya lubaale Moleki,
n'emmunyeenye ya lubaale Refani.
Ebyo bye bifaananyi bye mwakola,
mulyoke mubisinze.
N'olwekyo ndibawaŋŋangusiza
emitala wa Babilooni.’
44“Bajjajjaffe bwe baali mu ddungu, baalina eweema eraga nti Katonda ali nabo. Eweema eyo yakolebwa nga Katonda bwe yagamba Musa okugikola, n'agikola mu ngeri Katonda gye yagimulagamu.#Laba ne Kuv 25:9,40 45Bajjajjaffe nabo ne bagifuna, ne bajja nayo. Bwe baayingira mu nsi muno nga bali ne Yoswa, ne beefuga ensi y'ab'amawanga amalala, Katonda be yagobamu nga bajjajjaffe balaba. Eweema eyo yabeera mu nsi muno okutuusiza ddala mu biseera bya Dawudi#Laba ne Yos 3:14-17 46eyasiimibwa Katonda, era eyasaba azimbire Katonda wa Yakobo ennyumba.#Laba ne 2 Sam 7:1-16; 1 Byom 17:1-14 47Wabula Solomooni ye yagimuzimbira.#Laba ne 1 Bassek 6:1-38; 2 Byom 3:1-17 48Kyokka Katonda Atenkanika tasula mu nnyumba zizimbibwa bantu, ng'omulanzi bw'agamba nti Mukama Katonda agamba nti:
49‘Eggulu y'entebe yange,
n'ensi kwe nzisa ebigere byange.
Mulinzimbira nnyumba ki?
Oba kifo ki mwe ndiwummulira?#Laba ne Yis 66:1-2
50Si nze nakola ebyo byonna?’
51“Mmwe abajeemu, ab'emitima emikakanyavu, era abagaana okuwulira ebigambo bya Katonda! Muli nga bajjajjammwe, kubanga bulijjo mulwanyisa Mwoyo Mutuukirivu!#Laba ne Yis 63:10 52Mulanzi ki bajjajjammwe gwe bataayigganya? Batta ababaka ba Katonda abaalanga okujja kw'Omutuukirivu, mmwe gwe mwalyamu olukwe ne mumutta. 53Mmwe abaafuna amateeka nga bwe gaalangirirwa bamalayika, mwagaana okugakwata.”
Siteefano akubwa amayinja
54Bwe baawulira ebyo, ne bajjula obusungu, ne bamulumira obujiji. 55Naye Siteefano ng'ajjudde Mwoyo Mutuukirivu, n'atunuulira eggulu, n'alaba ekitiibwa kya Katonda, ne Yesu ng'ayimiridde okuliraana Katonda ku mukono gwe ogwa ddyo. 56Siteefano n'agamba nti: “Laba, ndaba eggulu nga libikkuse, n'Omwana w'Omuntu ng'ayimiridde okuliraana Katonda ku mukono gwe ogwa ddyo.”
57Naye bo ne baleekaana n'eddoboozi ery'omwanguka, nga baggadde amatu gaabwe, ne bamufubutukira bonna wamu. 58Ne bamufulumya ebweru w'ekibuga, ne bamukuba amayinja. Abo abaamukuba amayinja, engoye zaabwe ne baziteresa omuvubuka erinnya lye Sawulo, azikuume. 59Bwe baali bamukuba, ye n'akoowoola ng'agamba nti: “Mukama wange Yesu, twala omwoyo gwange.” 60N'afukamira, n'akoowola n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Ayi Mukama, basonyiwe ekibi kino.” Bwe yamala okwogera ebyo n'afa.

Currently Selected:

EBIKOLWA 7: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in