EBIKOLWA 24
24
1Bwe waayitawo ennaku ttaano, Ssaabakabona Ananiya n'agenda n'abamu ku bantu abakulu mu ggwanga, ne munnamateeka omu ayitibwa Terutuulo, ne bawawaabira Pawulo eri omufuzi. 2Bwe yayitibwa, Terutuulo n'atandika okumulumiriza bw'ati:
“Oweekitiibwa ennyo Felikisi, obukulembeze bwo obw'amagezi butuleetedde obutebenkevu, era buluŋŋamizza ebintu bingi. 3Ekyo tukisiima bulijjo era mu buli kifo, nga tukwebaliza ddala nnyo. 4Naye obutakulwisa nnyo, nkusaba otuwulirize katono olw'ekisa kyo.
5“Omusajja ono twamuzuula nga muntu wa mutawaana. Ajeemesa Abayudaaya abali mu buli kifo, era ye mukulembeze w'ekibiina kya Banazaareeti. 6Yagezaako n'okwonoona Essinzizo ne tumukwata, [tumusalire omusango ng'amateeka gaffe bwe gali. 7Kyokka omukulu w'abaserikale Lusiya n'ajja n'amutuggyako lwa maanyi, n'alagira abamuvunaana okujja gy'oli.]#24:6b-8: Ebiwandiiko ebimu eby'edda, tebirina bigambo ebiri mu [ ] wano. 8Naawe wennyini bw'onoomubuuza ojja kumanya ebifa ku ebyo byonna bye tumuvunaana.” 9Abayudaaya nabo ne bamuwagira nti bwe bityo bwe biri.
Pawulo awoza mu maaso ga Felikisi
10Pawulo, omufuzi bwe yamuwenya okwogera, n'agamba nti: “Ssebo mmanyi ng'omaze emyaka mingi ng'olamula abantu b'eggwanga lino. Njija kuwoza n'obuvumu.
11“Ggwe wennyini bw'onoobuuza, ojja kuzuula nti ennaku tezinnayita kkumi na bbiri kasookedde nnyambuka e Yerusaalemu okusinza. 12Tebansanga nga mpakana na muntu n'omu mu Ssinzizo, oba mu kkuŋŋaaniro oba mu kifo ekirala kyonna mu kibuga, nga nsasamaza abantu. 13Era tebayinza kukuwa bukakafu bw'ebyo bye bannumiriza kaakano. 14Wabula njatula kino mu maaso go nti nsinza Katonda wa bajjajjaffe, nga ngoberera Ekkubo bo lye bayita ekkyamu. Era nzikiriza ebyo byonna ebiri mu Mateeka ga Musa, n'ebyawandiikibwa abalanzi. 15Nnina essuubi mu Katonda nabo bennyini lye balina nti abalungi n'ababi balizuukira, 16kyenva nnyiikira bulijjo okuba n'omwoyo ogutalina musango eri Katonda n'eri abantu.
17“Bwe waayitawo emyaka mingi, ne ŋŋenda mu Yerusaalemu okutwalira abaavu ab'omu ggwanga lyange eby'okubayamba, n'okuwaayo ebirabo.#Laba ne Bik 21:17-28 18Bwe nali nga nkola ebyo ne bansanga mu Ssinzizo, nga mmaze okukola omukolo ogw'okutukuzibwa. Saalina kibiina kya bantu, era tewaaliwo luyoogaano. Kyokka waaliwo Abayudaaya abamu abaava mu Asiya, 19be bandisaanye okuba wano mu maaso go, bannumirize oba nga balina kye banvunaana. 20Oba bano bennyini abali wano boogere oba nga balina omusango gwe baazuula ku nze bwe nawozesebwa mu lukiiko lwabwe, 21okuggyako kino ekimu kyokka kye nayogera nga nnyimiridde mu bo nti: ‘Mumpozesa olwaleero, olw'okwogera ku kuzuukira kw'abafu.’ ”#Laba ne Bik 23:6
22Naye kubanga Felikisi yali amanyi eby'Ekkubo eryo, n'ayimiriza omusango ng'agamba nti: “Lukiya omukulu w'abaserikale bw'alijja, ne ndyoka nsala omusango gwammwe.” 23N'alagira omukulu w'ekibinja ky'abaserikale okukuuma Pawulo nga musibe, wabula ng'alekerwa eddembe era nga tewali mukwano gwe n'omu aziyizibwa kumuweereza.
24Bwe waayitawo ennaku, Felikisi n'ajja ne Durusila mukazi we Omuyudaaya. N'atumya Pawulo n'amuwuliriza ng'ayogera ku bigambo by'okukkiriza Kristo Yesu. 25Kyokka Pawulo bwe yali ng'annyonnyola ku butuukirivu ne ku muntu okwefuga, ne ku lunaku Katonda lw'agenda okusalirako omusango, Felikisi n'atya, n'agamba nti: “Kaakano genda, bwe ndifuna ebbanga ndikuyita.” 26Era muli yali asuubira nti Pawulo anaabaako ky'amuwa. Kyeyavanga amuyita emirundi emingi anyumye naye.
27Bwe waayitawo emyaka ebiri, Porukiyo Festo n'atwala obukulu bwa Felikisi. Felikisi oyo olw'okwagala asiimibwe Abayudaaya, n'aleka Pawulo nga musibe.
Currently Selected:
EBIKOLWA 24: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.