YouVersion Logo
Search Icon

2 ABATESSALONIKA 2

2
Ebiribaawo Kristo ng'ali kumpi okujja
1Kaakano abooluganda, twagala okubategeeza ebikwata ku kujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo, era nga bwe tulikuŋŋaanira w'ali.#Laba ne 1 Bat 4:15-17 2Tubeegayirira muleme kusagaasagana mangu mu birowoozo byammwe, wadde okweraliikirira, nga mutegeezebwa nti olunaku lwa Mukama lutuuse, ekyo ne bwe kibategeezebwa omulanzi oba mu lugambo, wadde mu bbaluwa egambibwa nti ffe twagiwandiika. 3Temukkirizanga muntu n'omu kubabuzaabuza, kubanga olunaku olwo terulituuka ng'okujeemera Katonda tekunnabaawo, era omuntu omwonoonyi, ow'okuzikirira alimala kulabika. 4Aliwakanya era alyegulumiza ku buli kintu ekiyitibwa Katonda, oba ekisinzibwa. Era alituukira ddala ne ku kutuula mu ssinzizo lya Katonda, nga ye yennyini yeeyita Katonda.#Laba ne Dan 11:36; Ezek 28:2
5Temujjukira nti ebyo nabibategeeza bwe nali nkyali nammwe? 6Era mumanyi ekimuziyiza okulabika okutuusa ekiseera kye lwe kirituuka alyoke alabike. 7Obujeemu weebuli, bukolera mu kyama. Kyokka oyo abuziyiza ajja kubuziyiza okutuusa lw'aliggyibwawo. 8Olwo omujeemu oyo alirabika, Mukama Yesu waffe n'alyoka amutta n'omukka ogw'omu kamwa ke, era n'amuzikiriza n'ekitiibwa kye ky'alijjiramu.#Laba ne Yis 11:4 9Omubi oyo aleetebwa Sitaani, alijja n'akola n'amaanyi mangi ebyamagero ebya buli ngeri, n'ebyewuunyo eby'obulimba.#Laba ne Mat 24:24 10Era alikozesa buli kibi ekiyinza okukyamya abo ab'okuzikirira, kubanga baagaana amazima agandibalokodde. 11Katonda kyava abaleka okubuzibwabuzibwa, bakkirize eby'obulimba, 12abo bonna abatakkiriza mazima, balyoke basingibwe omusango, kubanga baasanyukira ekibi.
Mwalonderwa kulokolebwa
13Abooluganda, abaagalwa ba Mukama waffe, tuteekwa okwebaza Katonda bulijjo ku lwammwe, kubanga Katonda yabalonda, mube ababereberye mu kulokolebwa olw'amaanyi ga Mwoyo Mutuukirivu, abafuula abantu ba Katonda abatukuvu olw'okukkiriza amazima. 14Yabayitira mu Mawulire Amalungi, ge twabategeeza, mulyoke mugabane ku kitiibwa kya Mukama waffe Yesu Kristo. 15N'olwekyo, abooluganda, mube banywevu, munywerere ku ebyo eby'amazima bye twabayigiriza mu bigambo oba mu bbaluwa yaffe.
16Kale Mukama waffe Yesu Kristo yennyini, ne Katonda Kitaffe, eyatwagala era olw'ekisa kye, n'atuwa essanyu eritaggwaawo n'essuubi eddungi, 17abagumye emitima, era abawe amaanyi, mu birungi byonna bye mukola ne bye mwogera.

Currently Selected:

2 ABATESSALONIKA 2: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for 2 ABATESSALONIKA 2