1
2 ABATESSALONIKA 2:3
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Temukkirizanga muntu n'omu kubabuzaabuza, kubanga olunaku olwo terulituuka ng'okujeemera Katonda tekunnabaawo, era omuntu omwonoonyi, ow'okuzikirira alimala kulabika.
Compare
Explore 2 ABATESSALONIKA 2:3
2
2 ABATESSALONIKA 2:13
Abooluganda, abaagalwa ba Mukama waffe, tuteekwa okwebaza Katonda bulijjo ku lwammwe, kubanga Katonda yabalonda, mube ababereberye mu kulokolebwa olw'amaanyi ga Mwoyo Mutuukirivu, abafuula abantu ba Katonda abatukuvu olw'okukkiriza amazima.
Explore 2 ABATESSALONIKA 2:13
3
2 ABATESSALONIKA 2:4
Aliwakanya era alyegulumiza ku buli kintu ekiyitibwa Katonda, oba ekisinzibwa. Era alituukira ddala ne ku kutuula mu ssinzizo lya Katonda, nga ye yennyini yeeyita Katonda.
Explore 2 ABATESSALONIKA 2:4
4
2 ABATESSALONIKA 2:16-17
Kale Mukama waffe Yesu Kristo yennyini, ne Katonda Kitaffe, eyatwagala era olw'ekisa kye, n'atuwa essanyu eritaggwaawo n'essuubi eddungi, abagumye emitima, era abawe amaanyi, mu birungi byonna bye mukola ne bye mwogera.
Explore 2 ABATESSALONIKA 2:16-17
5
2 ABATESSALONIKA 2:11
Katonda kyava abaleka okubuzibwabuzibwa, bakkirize eby'obulimba
Explore 2 ABATESSALONIKA 2:11
6
2 ABATESSALONIKA 2:9-10
Omubi oyo aleetebwa Sitaani, alijja n'akola n'amaanyi mangi ebyamagero ebya buli ngeri, n'ebyewuunyo eby'obulimba. Era alikozesa buli kibi ekiyinza okukyamya abo ab'okuzikirira, kubanga baagaana amazima agandibalokodde.
Explore 2 ABATESSALONIKA 2:9-10
7
2 ABATESSALONIKA 2:7
Obujeemu weebuli, bukolera mu kyama. Kyokka oyo abuziyiza ajja kubuziyiza okutuusa lw'aliggyibwawo.
Explore 2 ABATESSALONIKA 2:7